ABANTU abalondebwa omukulembeze we Ggwanga Gen. Yoweri Kaguta Museveni ku bwa Minisita gye buvuddeko, kikakasiddwa nti basunsulwa lunaku lw’akutaano nga 3.01.2020.
Bano oluvanyuma nga akakiiko akola ku kusunsula kamaze omulimu gwako bajja kulayizibwa oluvanyuma bakwasibwe zi offisi zaabwe batandike emirimu gyabwe.
Akakiiko akagenda okusunsula kakulirwa Sipiika wa Palimenti yennyini, era nga kisuubirwa nti bwezinawerera ssawa 3:30 ez’okumakya ababaka abakatuulako bajja kuba nga bakkalidde dda mu ntebbe zaabwe nga balindirira abalondebwa nga bwe banaaba balambikiddwa.
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa Kilaaka wa Palimenti Jane Kibirige kilaze nti bagenda kusookera ku Mubaka wa Igara West Raphael Magyezi eyalondebwa okuba Minisita wa Gavumenti ez’ebitundu, kuno kujja kuddako omubaka omukyala owa Mityana Judith Nabakooba nga ono naye yalondebwa okubeera minisita omujjuvu ow’ebyamawulire ne Tekinologiya.
Abalala okuli Peter Ogwanga eyalondebwa okuba Minisita omubeezi owa Tekinologiya, Hellen Adoa oweby’obuvubi, Denis Obua owe by’emizannyo, Robinah Nabbanja owe by’obulamu ebisookerwako, Jackson Kafuuzi amyuka Ssabawolereza wa Gavumenti ne Beatrice Anywar omubeezi owe by’obutonde bwe Nsi nabo bakusunsulwa olunaku lwe nkya.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com