Ligesitula wa Allied Health Professionals’ Council Patrick Mpiima Kibirango alabudde abasawo okwewala okukola ebintu ebityoboola omulimu gwabwe.
Mpiima anokoddeyo abasawo abakola ogw’okukebera omusaayi abeekobaana n’abantu abagenda gye bali nga baagala okubakebera omusaayi gw’akawuka kyokka ne babagulirira okubawandiikira ebivudde mu musaayi nga biraga tebalina kawuka naye ng’oluusi balwadde basiriimu.
”Ekyo kikyamu nnyo era abakikola ogwo musango gwa butemu. Tufube okwagala emirimu gyaffe, tugikole n’obumalirivu era ewatali kwekaanya,’ bwe yabasabye.
Kibirango okwogera bino yabadde akulembeddemu amatikkira a’omulundi ogw’okusatu ag’ettendekero ly’abasawo erya St. Elizabeth’s Institute of Health Professionals e Mukono. Ono era yategeezezza abayizi ng’agamu ku masomo g’abasawo bwe gali ag’ettunzi ennyo okukira ku malala ng’era ago ge balina okwettanira.
Yanokoddeyo abasawo abakola ogw’okukebera omusaayi, okukuba ebifaanyi mu malwaliro n’okutabula eddagala.
Mu kusooka, amyuka dayirekita w’ettwbdekero lino Stephen Musoke yalaze okunyolwa olw’abasawo abazze bafulumizibwa okumala emyaka ebiri egiyise naye nga ab’ekitongole ky’ebigezo by’abasawo ekya Uganda Allied Health Examinations Board na buli kati tebabawanga amabaluwa gaabwe okubasobozesa okufuna emirimu.
Wabula mu kwanukula, omuwandiisi w’ekitongole ekyo, Joseph Agondua yategeezezza nga ddala bwe babadde n’ekizibu ekyo wadde nga baamaze okukigonjoola. Yagambye nti okutandika ne wiiki ejja, bagenda kutandika okugaba amabaluwa gano nga Batandika n’abasooka okufuluma.
Kibirango era yatongozza okuzimba ekizimbe ki galikwoleka ekigenda okuwemmenta obuwumbi butaano mu bbanga lya myaka 3 gyokka. Raymond Paul Ssebaggala nga dayirekita w’ettendekero lino yagambye nti baluubirira kufuuka yunivasite enzijuzi mu bbanga lya myaka 5 egijja mu maaso.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com