MINISITA we by’okwerinda Gen. Elly Tumwine atabukidde munnamaggye munne Lt. Gen Charles Angina nga amulanga okuyingiza ebitongole bye by’okwerinda mu nkayana ze ttaka e Muyenga.
Kitegerekese nti ettaka eliriko enkayana lya liliko abantu 2 okuli omugagga Godfrey Kirumira saako ne muganda wa Lt Gen. Angina atanategerekeka mannya.
Gye buvuddeko abantu abagambibwa okuba abamaggye nga bali ku bilagiro bya Lt. Gen Agina bakakkana ku mugagga Kirumira ne bamukuba nga bagamba nti yaliko ensalosalo zayagala okwongeza mu ttaka lya muganda wa mukama waabwe.
Ku lw’okutaano omugagga kirumira era azzeeyo ku ttaka lino ne Lt. Gen Angina oluwulidde n’abissamu engatto n’agendayo okulaba ogubadde, abadde yakatuukayo nga amaze n’okuwa ebiragiro abaliwo bonna bakwatibwe ne Minisita Gen Tumukunde nayingirawo.
Ekiddiridde Minisita kwe kukangula ku ddoboozi nakambuwalira Angina era namuboggolera nga amubuuza omuselikale we Ggwanga wasinziira okweyingiza mu nkaayana ze ttaka, ate nayingizaamu n’abaselikale be ggwanga.
“Oli musilikale wa Ggwanga alina okukolera abantu bonna lwaki weyingiza mu nkayana ze ttaka z’otalinako buyinza? oli wa kitongole kya KCCA oba? ensonga zino zijjemu amaggye ne bitongole bye by’okwerinda era saagala kukulaba nga ozeemu okuzeyingizaamu leka be kikwatako bakole ogwabwe” Gen Tumwine bwe yagambye.
Lt. Gen Angina eyalabise nga atidde nnyo yawulikise nga awuuna buwunyi ekyalaze nti akkirizza ebiragiro bya mukama we.
Gye buvuddeko Ssentebe we Muyenga Rashid Omar yategeeza nga bwe baayingira mu nkayana wakati w’omugagga Kirumira ne mutuuze munne era ne babasaba ebyapa bye ttaka elikayanirwa, kyokka kyabewunyisa Kirumira bwe yagaana okutwalayo ekyapa kye, ate munne ye naleeta ekikye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com