ABANTU bagamba nti nze nina omululu ku nsimbi z’omwana wange naye ekyamazima zibadde zisusse okukwatibwamu ennyo!! Bwatyo Taata w’omuyimbi Patrick Senyonjo amanyiddwa nga Fresh Kid Paul Mutabaazi bwe yagambye bwe yabadde ayogera ku mbeera eliwo wakati waabwe ne Maneja Francis Kamoga abadde akwasaganya eby’okuyimba kwa mutabani we.
“Nga abazadde abazaala Fresh Kid tubadde tetusobola kutunula butunuzi nga waliwo embeera etali nambulukufu mu baddukanya ekitone ky’omwana waffe, kwe kusalawo okumukwasa Maneja omulala amanyiddwa nga MC Events, kubanga banange ne nsimbi zaakola tubadde tetuzimanyi nga endagaano gye twakola bwe yali egamba.
Nze silabanga ku mpapula mukwano gwaffe Francis zaabadde atekako mikono nga bayise omwana mu kivvulu, okujjako nze abadde nga ampita buyisi nga omwana amaze okuyimba nampa olumu emitwalo 300,000, era nantegeeza nti zezivuddemu.
Ebyo nno nze mbadde sibifaako nnyo naye nga bwe nzira ebweru abategese ebivvulu nga bangamba nti omwana baamuwadde obukadde 2 oba 3 bwentyo nenewunya enkola ya muganda waffe Francis.
Naye mukama eyawa omwana wange ekitone era yamanyi ne kiddako wamu maneja omupya gwe twafunye” Mutabaazi bwe yagambye.
Yabadde ku Pulogulaamu ya Full Dose ku ttivvi ya Bukedde nga ayanukula ku mbeera eliwo wakati w’abazadde n’abadde Maneja wa Fresh Kid.
Mu kwanukula Kamoga yagambye nti talina yadde omunwe gwe nnusu ya Fresh Kid gye yali abulankanyizza, nagamba nti buli kimu abadde akikola mu bulambulukufu bwakyo era nga ne Mutabaazi abadde agenda naye mu bivvulu nalaba ensimbi omwana we zaaba akoze.
Yagambye nti yadde abazadde baamujeeko omwana ne bamufunira maneja omulala, tagenda n’omulundi n’ogumu kulwanyisa kitone kya Fresh kid nti kubanga akakasa nti mwana muto ne biliwo kati tabimanyi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com