ABAYIZI be Ttendekero lya Kampala University ettabi elye Jinja baguddemu ensisi omukuumi we kitongole ky’obwanakyewa bwakubye muyizi munaabwe amasasi agamutiddewo.
Afudde ategerekese nga ye Katagwa Isaac abadde mu mwaka gwe ogw’okusatu nga asoma diguli mu ssomo lya wooteeri n’okw’ewummuzaamu.
Okusinziira ku beerabiddeko nga bino byonna bigwawo ategezezza nti Katagwa n’omukuumi baafunyemu obutakkaanya era ne bayomba ebigambo ebiwanvu ne kyavuddemu kwe kuwulira amasasi agavuga baagenze okumutuukako nga afudde.
Kigambibwa nti omuselikale amasasi yagakubye mu mugongo gwa Katagwa nga amusemberedde.
Omwogezi wa police e Jinja Dianah Nandawula agambye nti oluvanyuma lw’okuwulira amawulire baagenze mu kifo awabadde obutemu, era ne bakwata omuselikale Paigi Zaidi agambibwa okukuba Katagwa amasasi agamuttiddewo.
Anyonyodde nti baatutte omugenzi mu ddwaliro ekkulu e Jinja okugezaako okutaasa obulamu tekyasobose, nagamba nti okunonyereza kukyavuddeko ettemu lino kugenda mu maaso, naye nga ye Zaidi bamulina bagenda kumuggulako emisango okuli gw’obutemu.
.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com