OMUKULEMBEZE we Ggwanga Gen. Yoweri Kaguta Museveni agamba nti bambega mu bitongole bye by’okwerinda ebyenjawulo omuli ba DISO, GISO, nabakulira okuketta ku miruka ba PISO tebakoze kimala kulondoola saako n’okuloopa abalyi be nguzi mu Ggwanga.
“Natekawo akakiiko ka Lt. Col. Edith Nakalema anyambeko mu kulwanyisa obulyi bwe Nguzi naye olumu naye bambi alina waakoma mu kunonyereza nga ab’ebyokwerinda beekobaanye nabalyake ne babuza obujulizi naye nakyo tugenda kukisalira amagezi amangu ddala” Museveni bwagambye.
Okwogera bino Museveni abadde akulembeddemu bannaUganda abalala okutambulanga akamu ku bubonero okulaga nti Eggwanga lukooye enguzi era elina okulwanyisibwa okubadde mu Kampala ne kukomekkerezebwa mu Kisaawe e Kololo.
Omukulembeze agambye nti tewali kigenda kulemesa kakiiko ka Nakalema kulwanyisa balyake kubanga amaanyi gonna yagabawa era nebyetaagisibwa byonna babirina, kyokka naalaga okutya nti abakola ku kuketta balabika nti bakyalimu kawukuumi.
Asabye bannaUganda bonna okuvaayo ne ddoboozi limu okulwanyisa abalyake bayogeddeko nti bazza eggwanga emabega, ssi mu byanfuna byokka wabula n’okwonoona ekifananyi kya Gavumenti.
Ssabalamuzi wa Uganda Baati Magunda Katureebe mu kwogerakwe yeyamye eri bannaUganda nti ekitongole ekilamuzi kyakulira bagenda kwegatta ku Pulezidenti okulwanyisa abalyi be nguzi okutuusa nga babamazeewo bonna.
Omwaka oguwedde Pulezidenti Museveni yateekawo akakiiko akalwanyisa obulyi bwe nguzi era naalonda Lt. Col Edith Nakalema okukakulira, era nga mu kiseera kino emisango egisoba mu 10’000 gye gikwatiddwako era egimu ne gisindikibwa mu bitongole okuli ekilamuzi ne kya kalisoliiso.
Ensimbi ezisukka mu bukadde 800 nazo zaakomezebwawo okuva ku balyake, saako okukwata ku nsonga omuli ez’ettaka, ne mulala mingi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com