ABATWALA Bank ya Centenary ettabi erye Mukono bapondoose ne basalawo okuwandikira omutuuze Fred Festo Zirimala Kiggundu owe Ntinda Zone e Seeata Mukono, ne bamwetondera olw’ekyapa kye ttaka kye yali yabawa nga omusingo nga yewola ensimbi obukadde 15, kye bagambye nti kyababulako.
Kino kiddiridde ba namateeka ba Zirimala ba Ibaale Nakato and Compony Advocates okuwandikira Centenary Banka nga bagitegeeza nti singa teddiza muntu waabwe kyapa kye bagenda kugiwalawala bagitwale mu mbuga za mateeka esasulire obuvune bwetuusizza ku muntu waabwe.
Wabula akulira ebyamateeka mu Bank eno Innocent Kyakuha bwe yabadde addamu ebbaluwa ya ba Puliida ba Zirimala yagambye nti ddala bagezezzaako okunoonya ekyapa wonna we kiri naye kikyababuze.
“Tusazeewo okumukolera ekyapa ekipya ( Special Tittle) ku nsimbi zaffe, era tusaba mwami Zirimala atuberere wa kisa akkirize okuteeka emikono ku biwandiiko ebitusobozesa okutambuza omutendera ogwo, nga kwotadde okutuwa obufananyi 3 saako ne ndaga muntu ye tukikoleko amangu ddala nga bwekisoboka” Kyakuha bwe yategezezza mu kiwamndiiko kye yazeemu.
Wabula Zirimala bwe yatuukiriddwa ku nsonga eno yagambye nti tayinza kumala gakkiriza ba Centenary Bank kumukolera kyapa kirala kubanga bamaze ebbanga nga bamwetolooza ate nga mulwadde, nagamba nti engeri gye baatasobola kumusonyiwa nsimbi obukadde 3 obwali bwasigalayo ku bbanja, wabula ne basalawo kumwongeramu obukadde obulala 7 ne bufuuka 10, nagamba nti kati naye ayagala bamuliyirire obukadde 50 olw’okumubonyabonya saako n’okulagajjalira eky’obugagga kye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com