NGA omuyaga gwe by’obufuzi gweyongera okukunta mu Ggwanga Uganda ate era nga n’omwaka gwa 2021 okulonda mwe kugenda okuyindira gutandise okukuba kkoodi, abantu ab’enjawulo batandise okuvaayo okulamuza ebifo by’obubaka mu palimenti.
Olwaleero sisinkana omuvubuka embula kalevu Yinginiya Richard Sebamala amaliridde okusigukulula omumyuka w’omukulembeze we Ggwanga Edward Kiwanuka Sekandi mu kitundu kye Bukoto eyawakati.
Sebamala yayogeddeko ne Watchdog Uganda ku lw’okusatu nategeeza bwati…
Nazalibwa mu mwaka gwa 1979 ku kyalo Gulama ekisangibwa mu Gombolola ye Buwunga mu Masaka, Kitange ye Silas Ndawula omukugu mu byamasanyalaze, ne maama Elizabeth Nanyonga Ndawula omusawo omuzalisa, mu maka ga kitange baatuzaala abaana 8 era nga nze ow’okubiri.
Okusoma kwange natandikira mu ssomero lya Bisanje St. Modesta, Kimaanya Blessed Sacrament, St. Benard Nkoni, Buganda Road Primary School mu Kampala, Kanabulemu Primary school e Rakai eyo gye natuulira eky’omusanvu.
Eyo bwe navaayo nga mpise bulungi neeyunga ku Bukalasa Seminary oluvanyuma gye nava ne ngenda e Namilyango Boys gye natuulira siniya ey’okuna.
Siniya ey’omukaaga nagituulira mu Jinja College era ne mpita bulungi ne neegatta ku Yunivasite ye Kyambogo gye nasomera Diguli yange esooka mu by’obuzimbi.
E Kyambogo nga sinagendayo nali mu kusooka nsabye Makerere naye ne nfuna okuwabulwa okuva mu bakadde bange nti singa nali njagala kusoma bwa Yinginiya, Kyambogo lye lyandibadde ettendekero eddungi okusobola okufuna bye njagala.
Wano nasisinkana Pulofeesa Lutalo Bbosa eyali akulira ettendekero lye Kyambogo ekiseera ekyo, era bwe namuyitiramu nti njagala kusoma bya buzimbi naatunula mu mpapula zange era yampeerawo ekifo.
Eno nasomanga bwe nkola mu kaduuka ka maama wange ku kyalo Lungujja ekisangibwa mu Lubaga, era nga mu biseera by’oluwummula ku Yunivasite nakolako mu Takisi ze Masaka Kyotera, eyo abantu abangi gye basingira okummanya ennyo olw’emirimu gye nakolanga ne bavubuka banange nga tutambuza abasaabaze.
Ekiseera bwe kyatuuka okugenda okukola okugezesebwa mu mulimu gwe nali nsoma ogw’okuzimba, nagenda ne nsaba okuyambako ku bazimbi aba kkampuni enzimbi eya Zzimwe Construction Compony Limited mu kiseera ekyo eyali eri ku mulimu gw’okuzimba ekitebe kya FUFA e Mengo.
Eno bampa omulimu gw’okutabula omusenyu n’okuguwereza abazimbi, era nga buli lunaku baali bansasula ensimbi za Uganda 6000/=, omulimu nagutambuza bulungi era ne nfuna obukugu obwenjawulo.
Aba Zzimwe bwe baakizuula nti nali muyizi asoma eby’okuzimba mu Ttendekero e Kyambogo, ate nga balaba nfaayo nnyo okuyiga, wano eyali akulira eby’okuzimba mu kkampuni eno yinginiya Sam Semakadde yansemba okugenda okukulira banange abaali ku mulimu gw’okuzimba amaka ga Ssenkulu wa Zzimwe Construction Compony omugenzi kati Andrew Zzimwe Kasagga agasangibwa ku kyalo Gulama e Seeta Mukono.
Omulimu ogwo nagukola bulungi era bakama bange ne basiima wano banyongera obuvunanyizibwa bw’okugenda mu Disitulikiti ye Napak ku kyalo Kangoole okuzimba amaka g’omukulembeze we Ggwanga agali mu kitundu ekyo.
E Napak bwe navaayo ne banange twakwasibwa omulimu gw’okukola enguudo okwetoolola e Ttendekero lye Kyambogo (Kyambogo Lower Estates) era wano yadde nga nali nkyasoma natandika n’omulimu gw’okuwola bayizi banange ku kasente ekyandetera okumanyika ennyo mu bayizi banange kubanga ebiseera ebyo waaliwo obuzibu bwa sente eri abayizi abesasulira.
Aba Zzimwe baddamu ne bampita okuzimba ennyumba zabaselikale mu nkambi ya Kimaka e Jinja ne tuzimaliriza, oluvanyuma ne bankomyawo e Kampala okukola pulaani y’oluguudo lwa Nnyendo Masaka Town era ne tulukola bwe lwaggwa nange nali mmaze okusoma ne bantikkira.
Nga mmaze okufuna Diguli yange natandikawo kkampuni enzimbi wamu ne munange yinginiya Accleo Kiwanuka eyali eyitibwa DDAKI TECH SERVISES mu kibuga kye Masaka era ne tutandika okusaba emirimu okuva mu Disitulikiti ne mu magombolola gonna agaali mu Masaka. Nga eno twakola emirimu mingi omwali okutindira emigga n’okuggulawo amakubo agenjawulo.
E Masaka navaayo ne neegatta ku Yinginiya Sebyala mu kiseera ekyo eyali akutte omulimu gw’okutereeza enguudo mu kiseera Uganda we yatuuliza olukiiko lwa mawanga gonna agafugibwako Bungereza (CHOGM) era nampa emirimu gy’okukola ne tukola okunyiriza ekibangirizi kya semateeka mu Kampala wakati, saako ne ku luguudo lwe Entebbe.
Neeyunga ku kibinja kya bakugu abaagenda okuzimba ekitebe kya Minisitule ye byemirimu ne ntambula e Soroti mu mwaka gwa 2007, olwavaayo ne nsaba okusoma diguli yange ey’okubiri mu by’obuzimbi mu Ttendekero lya DANA collage mu America, bwe nagimaliriza ne neegatta ku kkampuni ya Mulitplex gye nayigira ebintu bingi n’obukugu mu kuzimba.
Twawebwa omulimu gw’okuzimba amalwaliro 28 mu zi Disitulikiti ez’enjawulo mu bugwanjuba bwe Ggwanga okuli Kiruhura, Mbarara, Bushenyi, Isingiro Ntungamo ne Kabale.
Bwe navaayo nasaba omulimu mu Gavumenti era ne bampa okubeera Yinginiya wa Munisipaari ye Iganga mu mwaka gwa 2013 gye nakolera okutuusa mu 2015 ne nkomawo e Kampala okusoma diguli yange ey’okubiri mu by’obukulembeze mu Ttendekero lya UMI.
Natandikawo kkampuni yange emanyiddwa nga TENDER UGANDA LTD, ekola kukunonyereza ku mirimu egyenjawulo saako n’okuwa amagezi butya amakampuni bwe gayinza okugisaba n’okugiwangula naddala ago ag’ebweru wa Uganda.
Ekimu ku bisinze okunzijayo okwetaba mu kuvuganya mu kifo ky’obukulembeze, kwe kuba nti ebbanga lye mmaze nga nkola emirimu, nkizudde nti omuntu yenna yetaaga okubaako mu bifo eby’okumwanjo mu bukulembeze bwe Ggwanga okusobola okutambuza emirimu gye obulungi nga kwotadde n’okusakira abantu baffe abawansi.
Ekilara kwe kuba nti ebintu ebyandigasizza abantu bingi Gavumenti byewereza wansi ku muntu owa bulijjo tebituuka, nga bilina we bikoma ne bitasobola kuganyula buterevu bantu basanidde, kyova olaba nga ffe Katonda bawanzeeko eddusu tubadde tukola nnyo okuteekawo Pulojekiti ezigasa abantu baffe ab’eMasaka kubanga bambi basigalidde nnyo e mabega mu bukulembeze obuliwo.
Ntandiseewo ebibiina by’obwegassi bingi mu Bukoto Central omuli Bukoto Micro-Finance abatuuze mwe bayita okwewola ensimbi ku magoba amatono ddala, nga kwotadde ne Sebamala Agricultural Stores gye twatandikawo okuyambako ku balimi baffe mu kitundu kye Masaka okwongera ku mutindo gwe birime.
Ebyemizannyo tubikutteko saako n’okuyambako ku baana ne bisale byamassomero naddala abo bamulekwa abawerera ddala 2010.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com