FRED Festo Kiggundu Zirimala omutuuze ku kyalo Ntinda Zone mu Division ye Goma gakaaba gakomba oluvanyuma lw’abakulu mu bbanka ya Centenary ettabi lye Mukono okulemagana okumuddiza ekyapa kye ttaka lye elisangibwa ku Block 110 Poloti 258 elisangibwa ku Mutala Seeta kye yabawa nga omusingo bwe yali yewola ensimbi obukadde 15.
Zirimala agamba nti aba Centenary Bank baamuwa ensimbi zino nga ennaku z’omwezi 29.03.2011 era naatandikirawo okusasula nga endagaano bwe yali egamba mu kiseera ekyo, kubanga kwaliko n’obukwakkulizo nga tayinza kumenyako yadde akamu.
Agamba nti yagenda mu maaso n’okusasula ensimbi okutuusa mu mwaka gwa 2014 bwe yafuna obulwadde obwamusumbuwa okumala ekiseera nga yali akyabangibwa obukadde 3 bwokka.
Anyonyola nti ekiseera bwe kyayitawo nga tasasudde nsimbi obukadde 3 obwasigalayo olw’obulwadde obwamala ekiseera ekinene nga bumusumbuwa, abakulu abaakola ku kumuwola sente zino baagenda mu maaso ne bamwogeramu obukadde obulala 7 nga engassi olw’obutasasulira mu biseera nakikkiriza.
Oluvanyuma Muwala we Juliet Nantongo bwe yalaba nga ensimbi ze baawola kitaawe zeyongedde obungi nasalawo okuwandikira akulira Banka ya Centenary nga 31.05. 2019 amukkirize asasulire kitaawe sente ezimubangibwa nga akozesa akawunti ye gye yali atambuza mu bbanka yeemu.
Abakulu mu bbanka baamukkiriza okukikola era ensimbi nazisasula zonna ne ziggwayo ne kigendererwa eky’okununula ekyapa okuva mu bbanka.
Agamba nti ekyasinga okumwewunyisa be bakulu mu Centenary okumutegeeza nti baagala mwami Zirimala yenyini yaaba ajja akwasibwe ekyapa kye yaleeta mu bbanka eno.
Oluvanyuma Zirimala yasalawo okwekakaba yadde nga yali akyali mu bulumi naagenda ku bbanka asobole okukwasibwa ekyapa kye naye n’okutuusa kati abakulu bakyagaanyi okukimuwa.
“Ekyamazima siwulira bulungi kubanga mu bulumi omwana wange yasalawo okubasasula naye silaba nsonga lwaki tebampa kyapa kyange” Zirimala bwe yagambye.
Akulira Centenary Bank ettabi erye Mukono Geofrey Kalumba bwatuukiriddwa agambye nti, ensonga za mwami Zirimala azimanyi bulungi era nga abakulu abalala abazivunanyizibwako bazikolako, mu bbanga ttono ekyapa kye kyakumuweebwa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com