ABAMU ku babaka ba Palimenti abatuula ku kakiiko k’ebyokwerinda bavudde mu mbeera ne batabukira abakulu mu kitongole kya Poliisi ye Ggwanga nga babalanga okutuntuza abamawulire.
Aba Poliisi ababadde bakulembeddwamu amyuka Sabaduumizi wa Muzeeyi Sabiiti, nga bano baabadde baliko ensonga ezibayisizza akakiiko ez’amangu nga muzo kubaddeko n’okutulugunya bannamawulire mu butabanguko obwaliwo mu ttendekero lye Makerere gye buvuddeko.
Ababaka nga bakulemberwamu omubaka wa Kalungu Joseph Sewungu Gonzaga bagaanye n’okwetaba mu lutuula lwa kakiiko nga bagamba nti aba Poliisi basooke baddemu ebibuuzo ebikwata ku kutulugunya bannamawulire n’abaana be Makerere nga tebanabaako kye bakola.
Sewungu agambye nti tebayinza kutuula butuuzi mu kakiiko nga tebogedde ku nsonga zakutulugunya bannamawulire nabantu abalala Poliisi kwekola.
“Ekirungi abakulu bali wano batubuulire lwaki batulugunya bantu, bwe bagaana nze ne banange tetugenda kutuula mu kakiiko kano” Sewungu bwagambye.
Bwe beeremye okubaako kye boogera ku nsonga eno nafuluma nagenda.
Ye Sabiiti agaanye okubaako kyayogera ne bannamawulire ku nsonga eno.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com