EKUUMIRO lye byafaayo (Uganda Museum) lifunye omukisa okweddabulula mu ndabika ekitongole kya Getty Foundation okuva mu ggwanga lya America bwe kibawadde obukadde bwe nsimbi za Uganda 500.
Ekkumiro lino ennaku zino libadde telisanyusa balabi mu ndabika, ekyaletedde abakulira ekifo kino okuvaayo ne batandika okunoonya ensimbi basobole okukizza obuggya saako n’okukyusiza ddala endabika yaakyo.
Ensimbi zino bagenda kuzikozesa okuddabiriza ekifo awali eby’obulambuzi ne byafaayo bye Ggwanga Uganda, ekibadde mu mbeera etasanyusa balabi nga kino era baagala okukituusiza ddalaa ku mutindo gwe Nsi yonna abalambuzi basobole okweyongera okuggya okulaba ebintu ebikolebwa mu Uganda nga kwotadde ne byafaayo ebili mu kitundu kino.
Mu lukiiko olwatuuziddwa ku kitebe kya Uganda Museum e Kamwokya mu Kampala ku mande nga batongoza omulimu, akulira ekitongole kino Rse Nkaale Mwanja yagambye nti guno mukisa gwamaanyi ogwabaweredda aba Getty Foundation, nagamba nti nabo bagenda kufuba okulaba nga bakozesa ensimbi bulungi okulaba nga ddala bajjayo ekifananyi kye kifo kino nga bwe bakisuubira.
Yanyonyodde nti olw’okuba bali mu kibuga wakati, waliwo n’omuyaga gwe byenkulakulana ogwali gubazinze nga waliwo abaali baagala okutwala ekifo kino bazimbeko ekizimbe kye by’obusuubuzi ekye myaliriro 20 nga baali balaba nga ekifo kino ekitakyali kyamugaso, nagamba nti beetaaga okukikola kituukane n’omutindo okwewala abayinza okukilamuza nate.
“Mu banga lya myezi 18 tugenda kulaba nga tufuna abakugu okuva mu Uganda ne bweru abagenda okutuyambako okusobola okuvaayo ne nkola ennungi ey’okulabirira saako n’okukuuma ekifo kino obutaddamu kwononeka.
Era tugenda kutendeka abakozi baffe bafune obukugu mu kulabirira ebintu byonna eby’ebyafaayo ebiri mu kitundu kino, okusobola okwongera okusikiriza abalambuzi okukyeyunira.
Ekifo kino kyatandikibwawo mu mwaka gwa 1908 era nga ebizimbe ebiriwo kati byazimbibwa mu mwaka gwa 1947.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com