SSENTEBE wa Disitulikiti ye Mukono Andrew Ssenyonga yeesamudde ebigambibwa nti yoomu ku beefunyiridde okutunda ettaka okutudde ekitebe kya Disitulikiti, kyagamba nti kyabulimba era abakikola baagala kumwononera linnya.
Nga asinziira ku gumu ku mukutu gwa Leediyo ya Dunamiz FM esangibwa mu kibuga kye Mukono Ssenyonga yagambye nti ennaku zino waliwo ebigambibwa nyi ettaka okutudde ekitebe kya Disitulikiti ye mukono lyonna lyatundibwa nga yoomu ku bali emabega wobuguzi buno, nagamba nti kikyamu kubanga ettaka lino Mengo yelivunanyizibwako ssi Disitulikiti ye Mukono nga abangi bwe bakimanyi.
“Bannaffe musaana mukimanye nti gyebuvuddeko Gavumenti eyawakati yazzaayo ebintu bye Mengo okuli ettaka okutudde embuga za Ssabasajja ez’amassaza saako n’amagombolola okwetoloola Buganda yonna.
Ffe wano we tuli ku kitebe kya Disitulikiti tuli ku yiika ze ttaka 49 ez’embuga ye Gombolola ya Mituba 4 Kawuga era nga okuva ettaka eryo lyonna bwe baalizzayo eri Gavumenti ye Mengo tetukyalivunanyizibwako okujjako ekitongole kya Ssabasajja ekya Namulondo Investments.
Era byonna ebintu ne byobugagga ebiggwa mu ttaka eryo nga Disitulikiti tetubilinaako buyinza, era nga kyemuvudde mulaba Katikkiro yampita ku nsonga ezo omwaka oguwedde ne bazinyinyonyola bulungi ne nzitegeera, nga kati bwe mbaako kye nkola ekitali mu mateeka mba mpisizza mu mukama wange Kabaka amaaso, Katikkiro we saako ne Pulezidenti we Ggwanga lino” Ssenyonga bwe yagambye.
Yanyonyodde nti bannabyabufuzi bangi bamusokasoka abeeko ebigambo byayogera nga akolokota Mengo nagamba nti ekyo tasobola kukikola kubanga akimanyidde ddala nti ebintu ebikayanirwa bannamukono tebikyali byabwe byaddayo dda e Mengo.
“Banange naffe kati tuli bapangisa kubanga ensimbi ab’eMengo ze baatusaba okwegula awali ekitebe tetunazibawa” Nga ne bintu byonna ebyagenda ku mulembe gwa banange be naddila mu bigere tebilina we binvunanyizibwako nga omuntu” Ssenyonga bwe yagambye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com