MINISITA avunanyizibwa ku byenjigiriza Janet Kataha Museveni alidde mu ttama nawera obutaddamu kugumikiriza bakozi mu minisitule ye byenjigiriza naddala abakola ku nsonga z’okulambula amassomero, bayogeddeko nti balabika tebakyakola mirimu mu bulambulukufu.
Agamba nti bano bagenda kukwatibwako n’omukono ogwamaanyi kubanga bakizudde nti bebamu ku nsonga lwaki omutindo gwe byenjigiriza mu Ggwanga gusse nnyo.
Okwogera bino yabadde mu lukiiko olwagendereddwamu okutongoza enkola ezigenda okuyitibwamu okusobola okutumbula ebyensoma mu massomero ge sekendule mu Ggwanga, olwayindidde mu maka g’obwa Pulezidenti Entebbe.
Yagambye nti okulambula kwa massomero kye kimu ku bisomooza ekisinga obunene mu byenjigiriza, era nga kye kisinze okussa omutindo gwe bye nsoma mu Ggwanga, .
ngamba nti kuluno tebagenda kukkiriziganya naabo abalambuzi ba massomero ba semugayaavu
“Offisi yange n’omuwandiisi we nkalakkalira tweyama nti tugenda kukwatagana okulwanyisa abantu abo analemererwa okukola emirimu gyabwe mu bulambulukufu, era tusaba nabantu ssekinoomu okutuyambako mu nkola eno nga mutuwa amawulire wekyetaagisa” Janet Museveni bwe yagambye.
Yakyukidde abazadde nabajjukiza obutasuula buvunanyizibwa bwabwe ku baana be bazaala, beyayogeddeko nti bano obuvunanyizibwa obusinga obungi babutikka basomesa nagamba nti balina okukwasiza wamu okusobola okutumbula ebyensoma bya baana nga buli omu alimye olibimbi lwe
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com