OMUKULEMBEZE we kisinde kya People Power Robert Kyagulanyi amanyiddwanga Bobi Wine agamba nti singa teyali abadde Ssentebe wa kakiiko ke ddembe ly’obuntu Med Kaggwa kuvaayo nalemera ku nsonga y’okukkiriza abantu be bamulabeko n’okutwalibwa mu kkooti singa yafa dda.
Kyagulanyi ategezezza nti omuntu nga Med Kaggwa ku mulimu gwabadde akola tasangika kubanga abadde alemera ku nsonga, nagamba nti mu mwaka gwa 2018 bwe yakwatibwa ne banne 30 singa teyali Kaggwa baali basse.
“Okusinziira abasajja abatukwata obukambwe bwe baalina, saako ne jebatusibira ebyaliyo singa Kaggwa ne banne tebalemerako nnyo sisuubira nti twandisigaddewo” Kyagulanyi bwagambye.
Abadde awa obubaka bwe ku mugenzi Medi Kaggwa afudde olwaleero bwabadde agenda mu ddwaliro okujjanjabwa, wabula nalemererwa okutuuka mu kintu kye mulago.
“Bwe twakwatibwa mu Arua ebintu byali bizibu kubanga batukuba nnyo ate nga tetukkirizibwa yadde okufuna obujjanjabi nga kwotadde okulaba ku bantu baffe, kino kyatumalamu nnyo amaanyi naye olumu mba ndi mu kadukulu mu barakisi ya maggye e Makindye ne bampita ndabe ku mukyala wange ne baganda bange.
Bantegeeza nti Kaggwa n’abakakiiko ke ddembe ly’obuntu be balwanyea ennyo okusobola okubakkiriza okundabako bwentyo ne nziramu amaanyi yadde nga nali siri mukwano gwe ate nga simumanyi nnyo” Bobi Wine bwayongeddeko.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com