OMMUKUBIRIZA w’olukiiko lwe Ggwanga olukulu Rebecca Alitwala Kadaga avuddeyo natabukira Minisita w’ebyobuzimbi eby’entambula ne nguudo Monica Azuba Ntege nga entabwe eva ku nsimbi obuwumbi 25 obwali obwokuzimba olutindo olugatta Buganda ku Busoga mu kitundu kye Kayunga ne Kamuli.
Kino kiddiridde omubaka wa Bunyole West James Waluswaka okuvaayo naabuuza abakulu mu kitongole ekikola enguudo ki UNRA wag ye kyateeka ensimbi ezaali zayisibwa okukola olutindo olugatta Kayunga ku Kamuli nga zaali zaatekebwa kwezo ezaali ez’okuzimba ebbibiro lya masanyalaze erya Isimba.
Yagambye nti ebbibiro lyaggwa era ne liggulwawo omukulembeze we Ggwanga, kyokka ekyewunyisa olutindo lwo teluggwanga ekilowozebwa nti ensimbi zino zagabanibwa abakulu mu kitongole kya UNRA saako ne mu Minisitule, nasaba Minisita aveeyo anyonyole ku nsonga eno.
Yayongeddeko nti olutindo luno singa telukolebwa lugenda kukosa nnyo obuwagizi bwa Pulezidenti Museveni ne NRM okutwalira awamu mu kulonda kwa 2021.
Wano Sipiika Kadaga yategezezza nti ensonga eno yagitegeerako era nawereza amanya ga bekikwatako ewa Pulezidenti mu mwezi gw’okuna omwaka guno, naye n’okutuuka kati tewabangawo kikolebwa.
“Twagala Minisita aveeyo annyonyole lwaki abantu ab’olubatu baalya ensimi ezaali zigenda okugasa abantu ba bulijjo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com