OMWAMI we Ssaza lye Buddu omulonde Pookino Muleke Jude yeddira Mutima omuyanja nga Muzukulu wa Namugera Kakeeto e Bbale ,mutabani womugenzi Gabulyeri ssalongo ne Simpulisiya Natembo Nalongo abebase embira Naruzali mugombolola yamutuba gumu Buwunga Masaka .
Yasomera Naruzali primary school,yeegata ku Bukalasa seminary jeyamala emyaka 6 ngalubirira okufuuka omusosolodoti .
Eno jeyava nga eneema y’obusosolodooti emulinnye ne yegatta ku kibiina kya ba white fathers e jinja jeyakoleera diguli eyasooka mu ssomo lye mbeera z’abantu ne lya solosofiya nga ettendekero lino lyali kumutindo gwa Nsi yonna nga musomeramu okusinga bayizi abagezi bokka.
Ettendekero lino ttabi lya Yunivasite ya Ekelezia eye NKOZI eyitibwa Urban university Of Roma.
Bweyamala wano yasindikibwa e Rwanda okubanguka mu nnimi ez’enjawulo naddala olufalansa era eno naawereza nnyo mu mirimu egya Ekelezia nga atekebwatekebwa okufuka omusosolodooti.
E Rwanda yavaayo mu mwaka gwa 2005 abakulu mu Ekelezia ab’ekibiina kya white fathers baamusindika mu Nsi ya Bukinafaso okwongera okubangulwa muntereza y’obusosolodooti eya banovice kyokka eno Mukama n’amugamba agira agumikiriza.
Wano agamba nti mwoyo wobusosolodooti yamwamukako ng’omwenge ku mutwe n’abivaamu olwo nga bajjajja ne mpewo ze kika zimwagala awereze obwakabaka ky’atasoka kutegeera.
Bwe yadda mu Uganda yeegatta ku Ttendekero lye Nkozi nasoma diguli ey’okubiiri mu by’enjigiriza n’enkulakulana yabantu.
E Nkozi baamwagala nnyo nawebwa omulimu gw’okuba omu kubakebezi bebigezo oyinza okumuyita moderator .
Eno bwe yavaayo yafuna omulimu mukitongole kya development research and training kino nga kitwala ebitongole bingi ddala eby’akuno nebweru ebirubirira enkulakulana yabantu. Era yakoleerako mukitongole kya poverty research centre kino kinonyereza kubwavu ne ngeri y’okubulwanyisamu.
Ngakoleera mu kitongole kino bakama be basalawo agende e kalangala okuzula nokunonyereza lwaki abantu bayo baffa obwavu ate ngawaliyo eby’obugagga bingi era naawebwa eddimu ery’okukola alipota ey’okulaba engeri gavumenti gy’esobola okulwanyisa obwavu mu Kalangala n’okujikulakulanya era nga bingi ebyali mu alipoota eno ebize bitekebwa mu nkola okukyusa ebizinga bye ssesse.
Kino bwe kyaggwa yatandika okukoleera ddala e kalangala nga yakulira kawefube wokulwanyisa nokunonyereza ku bwavu obwolutentezi obwali bususse okukooza akagiri abantu abawangalira ku bizinga bino.
Eno omulimu yamala naguleka natandika obulamu obubwe nga yatandikira mu kulima n’akulunda mu Masaka .
Wano Ssabasajja we yamulabira nasiima abeere owabavubuka mu gombolola ya katwe Butego.
Weyava wano olw’obukoozi bwe empologoma yamusiima ne muwa okubeera omwami we gombolola ya mituba 6.
Wano we yavudde n’afuulibwa Omwami we Ssaza lye Buddu ayitibwa Pookino.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com