BANNAMAWULIRE mu Ggwanga basabiddwa okuvaayo n’obumalirivu okulwanirira ensonga eziluma abantu, saako n’okukola amawulire mu ngeri y’obuvunanyizibwa okusobola okukyusa embeera za bantu ne Ggwanga okutwalira awamu.
Omukugu mu byamawulire JB Wasswa yeyabakutidde bino, mu kutendekebwa okwagendereddwamu okwongera okunyikiza obukugu bwabwe nga bakola emirimu saako ne neeyisa yaabwe mu bantu be bakoleramu okwabadde okwe nnaku 2 mu kibuga kye Jinja era nga kwetabiddwamu bannamawulire abakolera mu kitundu kya Busoga nga kwawagiddwa ekitongole ekirwanirira eddembe lya bannamawulire ekya Human Rights NetWork For journalists Uganda HRNJU wamu ne kitongole Democratic Governance Facility DGF.
Wasswa aganba nti bannamawulire balina bulijjo okuvaayo okukola amawulire ag’ensonga sso ssi kukola bintu bisamaliriza byokka oba ebileeta abantu enseko ku matama naye nga tebilina kye bikyusizza mu mbeera yabantu ababulijjo, nagamba nti abantu bajja kutandika okutwala bannamawulire nga abatali ba mugaso eri e Ggwanga songa emirimu mingi egiboolekedde okukola engeri gye bali nti lye ssiga lye ggwanga ery’okuna.
Yabakubirizza bulijjo okusooka okupima nga tebanakola mawulire, saako n’okwebuuzanga ku banaabwe ababasingako nga kino kye kimu ku bigenda okw’ongera okwogiya obwongo bwabwe saako n’okulongoosa omutindo gwe bifulumizibwa.
Ye akulira ekitongole kya HRNJ Robert Sempala yenyamidde olw’ekitongole kya Poliisi okutulugunyanga abamawulire nga bakola emirimu gyabwe kye yagambye nti kyetagisa abakulira ebitongole by’amawulire byonna awatali kwesalamu, abasunsuzi baago saako n’abagasaka okwegatta awamu baveeyo ne ddoboozi limu okusobola okukomya ebikolwa bye yayogeddeko nga eby’obutujju eri abamawulire.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com