BANNAMAWULIRE ab’egattira mu bibiina ebyenjawulo ababadde balaga obutali bumativu ku mbeera ekitongole kya Poliisi gye kibayisaamu nga bakola emirimu gyabwe enkya ya leero bakwatiddwa, bwe babadde batwala ekiwandiiko kyabwe ku kitebe kya Poliisi e Naggulu.
Bano ababadde bakulembeddwamu akulira ekibiina kya Uganda Journalists Association (UJA) Bashir Kazibwe Mbaziira saako n’akulira ekilwanirira eddembe lya bannamawulire ki Human Rights Network For Journalists Uganda, (HRNJU) Robert Sempala baakedde kukunga bannamawulire banaabwe okwegatta okusobola okulaga ekitongole kya Poliisi obutali bumativu bwabwe oluvanyuma lw’okutulugunyizibwa kwa banaabwe abaakubwa emiggo nga kwotadde n’okwonoona ebyuma ebikozesebwa mu mulimu gwabwe wakati nga bakwata amawulire mu ttendekero lye makerere, bwe waaliyo kwekalakaasa kwa bayizi nga bawakanya okwongeza ensimbi ku bisale ebitundu 15 ku buli 100.
Bwe babadde bali mu kkubo nga bagenda era nga bawanise ebipande okuli obubaka bwabwe, bazindiddwa ekibinja kya baselikale ba Poliisi era ne bakwata abamu ku banaabwe ne batekebwa ku kabangali ya Poliisi ne batwalibwa ku kitebe kya Poliisi mu Kampala, mu kiseera kino gye baggaliddwa.
Bino we bijjidde nga nabakungaanya ba mawulire mu bitongole ebyenjawulo wiiki ewedde basisinkana ne balaga obutali bumativu eri enkola ya Poliisi ye Ggwanga era ne basalawo okugira nga baleka okukola amawulire ga Poliisi okutuusa nga abagikulira bavuddeyo ne babaako kye bakola amangu ddala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com