EMBEERA ku Ttendekero ekkulu e Makerere eyongedde okubijja, Olukiiko olukulira Yunivasite bwe luyimirizza abayizi 9 nga balangibwa emisango okuli okukuba era ne balumya bayizi banaabwe saako n’okukwonoona ebintu wabweru we ttendekero.
Mu kiwandiiko ekisiddwa ku mutimbagano gwa Makerere kilaze nga bayimiriziddwa kuliko Frank Bwambale, Saasiraabo Siperia, Rogers Mbajjo Ssebiraaro,Derrick Ojambo Wabwire, Musiri David, Kyeyune Ivan, Mutatina Seiz, Dhabona Job ne Sennoga Simon.
Waliwo nabalala 26 abalabuddwa obutaddira kusiiwuka mpisa nga bwe banakiddamu okikola bajja kuweebwa ebibonerezo ebikakkali.
Bino byonna we bijjidde nga olukiiko olukulembera makerere lwasaba olukiiko olukwasisa empisa okutunula mu nsonga za bayizi abasiwuse empisa naddala mu kiseera nga okwekalakaasa kugenda mu maaso.
Abayizi mu ttendekero lino gye buvuddeko beesala akajegere nga bawakanya ensimbi ebitundu 15 ebyayongezebwa ku bisale bye baali basasula, olwo ne batandika okualga obutali bumativu nga baagala ensimbi zino abakulira Makerere bazijjewo.
Wano embera yayongera okutabuka abayizi abawala bwe bakulemberamu banabwe nga baagala okutwala ekiwandiiko mu office ya Pulezidenti nga bawakanya ensimbi zino era Poliisi ne bakwata ne baggalirwa e Wandegeya.
Oluvanyuma baateebwa kyokka ne bayimirizibwa okusoma, naye era abakulira abayizi ne bagenda mu maaso ne basaba olukiiko lwe mpisa okujjawo ekibonerezo ekyabaweebwa.
Ku lw’okubiri abakulembera makerere baasazewo okuleka abayizi bano bakole ebibuuzo bwe binaaba bituuse nga bwe balinda okusalawo kwa kalkiiko ke mpisa akali mu mitambo gyo kutunulira emisango egyazzibwa abayizi bano.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com