ABABAKA ba Palimenti bavuddeyo ne bawanjaga eri Minisitule ye bye nguudo okuvaayo mangu ekole ku nguudo ez’ononese ennyo mu biseera bye nkuba mu bitundu gye bava.
Bano bagamba nti mu bitundu gye bakikirira enguudo ennaku zino mbi nnyo, nga emigga egisinga gyonna gyawagulula olw’amazzi amangi ekireseewo okwelarikirira okuva mu batuuze abatakyasobola kukola bulungi mirimu gyabwe, omuli n’okuba nti tebakyasobola kutambuza byamaguzi byabwe.
Omubaka wa maselengeta ga Mukono mu Palimenti Johnson Muyanja Ssenyonga ategezezza omukubiriza w’olukiiko lwe Ggwanga olukulu Rebecca Kadaga nti, omugga ogumanyiddwanga Sezzibwa oguyita mu gombolola ye Nakisunga jakikiirira gwawagulula gye buvuddeko nga kati abaana ba massomero tebakyasobola kusala kugenda ku massomero nga kwotadde n’abalimi mu kitundu kyabwe okuba nti nabo kibaberedde kizibu okutambuza ebilime byabwe okubitwala mu butale obulinanyewo.
Muyanja agambye nti ebigoma ebyali byatekebwawo okutindira omugga guno byonna byatwalibwa amazzi amangi agava ku nkuba etonnya buli olukya, nagamba nti kati abantu bakozesa bwato obutono obumanyiddwa nga emmanvu okusobola okusaabaza abaagala okusomoka, bwagambye nti nabwo bwabulabe eri abatuuze kubanga buyinz okubayiwa mu mazzi ekitali kilungi.
Ababaka abalala mu bitundu okuli Busoga, Bukedi, Mbale, Karamoja ne bilara nabo bagasse eddoboozi lyabwe ku mbeera ye nguudo embi eri mu bitundu byabwe.
Ye Omubaka wa Bunya South Kyewalabye Majegere alaze okutya olwe bbula lya mafuta mu mmotoka za Poliisi gye ziggwamu amafuta, nagamba nti gye buvuddeko bwe yali addayo mu makaage yasanga abaselikale nga bakalakala ne mmundu ku bigere era kabula katono bawanyisiganye amasasi n’omukuumi we kubanga yali amanyi babbi ba mmundu kumbe amafuta gaali gabaweddeko, nasaba minisita we nsonga z’omunda atunule mu mbeera y’amafuta mu motoka za poliisi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com