ABAYIZI mu Ttendekero ekkulu e Makerere bongedde okutaama ne balumba enju ya eyaliko omukulembeze waabwe Salim Papa Were ne batekera ebintu bye byonna omuliro nga bamulanga kye bayise okwekobaana na batwala Yunivasite okwongeza ensimbi ebitundu 15 ku nsimbi ze basasula.
Bano bagamba nti bakizudde nti mu kiseera Were we yaberera omukulembeze wabwe ekiteeso ky’okwongeza ebisale we kyaletebwa okutesebwako kyokka natafaayo kukisimbira kkuli kye bagamba nti yandiba nga yoomu ku basinze okubalabya ennaku.
Bwe baty kwe kusalawo okumulumba bwe batamusanzeeyo kwe kukkira ebintu bye eb’omunju ne babitekera omuliro byonna ne bisaanawo.
Bino we bijjidde nga omukulembeze waabwe aliko kati Julius Kateregga akwatiddwa abantu abatanategerekeka bwabadde ava okukola Pulogulamu ku ttivvi ya NBS ku nkya yo lw’okusatu era natwalibwa mu kifo ekitanategerekeka.
Ono abadde alina olungaana olwategekeddwa abayizi lwabadde alina okwogereramu mu kibangirizi kya Freedom Square ekiri mu Ttendekero ekkulu e Makerere.
Bino olugudde mu matu ga bayizi ababadde bamulinze kwe kutandika okwesala akajegere okukakkana nga balumbye eyaliko omukulembeze waabwe ne bookya ebintu bye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com