SSABAWANDIISI we kibiina kya Forum For Democratic Change (FDC) Nathan Nandala Mafabi agugumbudde abakulembeze b’ebibiina okuli ekya Democratic Party (DP) saako ne UPC baagamba nti balabika bano eby’okulwanyisa omukulembeze aliko Museveni ssi bya baliko wabula bali mu buzanyo saako n’okwekulubesa naye, olwo ne balowozesa abantu nti bavuganya kumbe balimba.
Ono agamba nti ekyamazima n’omukago ogutaba ebibiina bye by’obufuzi IPOD tegulina kalungi ke guyinza kuvaamu kubanga abagukulembera bonna balowooza kulyaa mu ngalo za Museveni ne NRM.
“Nsobola okugamba nti bano bali mu kitanda kimu ne Pulezidenti Museveni beebisse bateesa ebyabwe nga abantu sso ssi kuteseza Ggwanga nga abantu abangi bwe balowooza, era ffe aba FDCtukimanyi nti ekigendererwa kyabwe kulemesa FDC ntekateeka zaayo zeelina okusobola okutwala obuyinza 2021” Mafabi bwe yagambye.
Yagambye nti bbo nga FDC bali mu kufuba kulaba nga NRM ne Pulezidenti bava mu bukulembeze naye banaabwe ab’ebibiina ebilala ssi bye baliko.
Gye buvuddeko FDC yagaana okwetaba mu nkiiko ezizze zitegekebwa omukago gwe bibiina by’obufuzi IPOD nga bagamba nti zino zigendererwa kulemeza Pulezidenti Museveni mu buyinza.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com