Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, Stanley era nga ye cansala wa yunivasity eno ow’okusatu, gano ge matikkira gaasembyeyo okubeerako mu kifo ekyo oluvannyuma lw’ennyumba y’abalabirizi okulonda Bp. Samuel Stephen Kazimba Mugalu okumuddira mu bigere nga Ssaabalabirizi ow’omwenda ate cansala wa Yunivasity y’obukulisitayo ow’okuna.
Ntagali asiimye amyuka cansala Dr. Canon John Senyonyi olw’enkolagana ennungi gy’abadde nayo gyali ebbanga ly’amaze mu kifo ky’obwacansala nga kino kye kisobozesezza emirimu ku yunivasite okugenda mu maaso.
Ntagali asabye abatikkiddwa okwewala okuguuka emisege nga batuuse mu woofiisi n’abasaba okukulembeza Katonda gye banaafuna emirimu olwo obulamu busobole okubagondera.
Amyuka Cansala wa UCU Rev Dr. John Senyonyi bwe yabadde ayogera eri abazadde n’abayizi abatikkiddwa yagambye nti yunivasity yaabwe evaamu abaana abayivu obulungi nasaba abakozesa okweyunira abayizi baabwe kubanga basomera ddala ne bakuguka.
Yakuutidde abazadde obutalekerera baana baabwe naddala mu mbeera y’okunoonya emirimu nagamba nti kikola bulungi nnyo omuzadde naye okwenyigira obutereevu mu kunoonyezaako omwanawe omulimu kubanga nababa bagenda okugumuwa bwe balaba ku muzadde bongera okukakasa nti ddala amaka mwava ga buvunanyizibwa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com