AMAGGYE ga UPDF geeganyi amawulire agabadde gayitingana nti waliwo omujaasi waabwe akubiddwa amayinja naafa mu kagugulano n’abayizi be ttendekero ekkulu e Makerere.
Omwogezi wa maggye ge Ggwanga Brig. Richard Karemire agambye nti kituufu babadde bakola ebikwekweto saako n’okukuuma emirembe mu ttendekero ekkulu e Makerere, naye tewali musilikale waabwe yenna attiddwa bayizi nga bwe bibadde bibungeesebwa mu mawulire.
Kumakya g’olwokutaano waliwo emikutu emigatta bantu egy’afulumizza amawulire nti waliwo omujaasi eyakubiddwa amayinja mu kiro ky’olwokuna naafa mu kisulo kua Lumumba wakati mu kwekalakaasa okubaddewo e makerere.
Karemire agambye nti gano amawulire makyamu era abajaasi baabwe bonna bali bulungi, era nga bakyagenda mu maaso n’okukuuma emirembe ku kasozi ka bayivu e Makerere.
“Ebigambo tebigenda kutujja ku mulamwa gwa kukuuma butebenkevu, era amawulire amafu ago gagenderera kutegeeza bannauganda nti oba oli awo tulemereddwa ekitasoboka, wetuli nnyo era tugenda kwongera okuwa abayizi obukuumi saako n’abantu ababeera, saako n’abakolera mu bitundu ebirinaanye e Ttendekero lye Makerere” Karemire bwagambye.
Abayizi be Makerere baatandika okwediima ku ntandikwa ya wiiki eno nga bawakanya okwongeza ebisale ebitundu15 ku buli 100 era abamu kubakulembeze baabwe ne bakwatibwa nga ne gye buli eno bakyakuumibwa ku Poliisi ye Wandegeya.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com