POLIISI ekakasizza nti mu bikwekweto ebyakoleddwa ku lw’okuna baasobodde okukwata abantu 250, ne bazuula amasimu amabbe 1600 nga kwotadde ne Pikipiki 134.
Ebikwekweto bino byakoleddwa mu maduuka agasangibwa ku kizimbe kya Mutaasa Kafeero Plaza mu Kampala wakati, saako ne mu bizimbe ebirinaanyewo, era ne byeyongerayo ne Katwe gye baazudde Pikipiki enzibe saako ne byuma byazo.
POmwogezi wa Poliisi mu Ggwanga Fred Enanga yagambye nti baafunye amawulire ag’omunda agalaga nti waabaddewo pikipiki ne byuma byazo ebitali mu makubo matuufu ku kizimbe kya Muganzi lwazza e Katwe bwe batyo kwe kugendayo ne bazikwata zonna ne zitwalibwa ku kitebe kya bambega ba Poliisi e Kibuli.
Yanyonyodde nti ekibinja kya basiklae ekilala kyazinzeeko amaduuka ga masimu ku kizimbe kya mutaasa kafeero gye baazudde amasimu amabbe amayitirivu, era ne bakizuula nti ababbi bwe baganyaga ku bantu waliwo abakugu abagenda mu maaso ne bagakyusa endabika saako n’okukyusa obubonero kwe ziyinza okulondolebwa nga ne bwokola otya tosobola kuzizuula.
Yasabye abantu bonna abaabulwako amasimu gaabwe okujja ku Poliisi ya CPS mu Kampala ne biwandiiko ebikakasa nti gaabwe bagatwale, ate zo pikipiki balina kugenda ku kitebe kya bambega e Kibuli gye zaatwaliddwa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com