POLIISI n’amaggye bazinzeeko ekibuga Kampala wakati era nga ebimu ku bizimbe abantu abakoleramu bali ku bunkenke nga tebamanyi kiddako.
Okusinga abasilikale basinze kuteekebwa ku kizimbe kya Mutaasa Kafeero, Kizito Towers, Kirumira Towers ne bilala ebirinanyewo.
Omu ku bakolera ku kizimbe kya Mutaasa Kafeero gwe twogeddeko naye agambye nti, abasilikale batandise okwaza buli kitundibwa mu madduuka naddala amasimu ge bagamba nti agamu abasuubuzi ge batunda gandiba nga gabbibwa ku bantu ne galeetebwa mu madduuka okufuna akatale akalala.
Mu kiseera kino teri muntu akkirizibwa kufuluma dduuka yadde okuyingira era nga eby’okwerinda binywezeddwa nnyo.
Kino kiddiridde Poliise okukwata abavubuka 2 nga baliko amasimu agasoba mu 60 ge baabadde bakukusa nga kigambibwa nti gano baabadde bagabbye mu bitundu bye Kawempe mu Kampala ne babakwatira e Jjeza ku lwe Mityana.
Abantu bangi bazze beemulugunya nti bwe bagula amasimu okuva mu gamu ku madduuka g’omuKampala naddala ku kizimbe kya Mutaasa Kafeero gabaleetera ebizibu, era ebiseera ebisinga bagenda okuddayo mu madduuka gye bagagula nga abalimu babeegaana, ekimu ku biteberezebwa okuba nti Poliisi kwesinzidde okukola ekikwekweto kino.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com