AKAKIIKO akatekebwawo omukulembeze we Ggwanga okulwanyisa obulyi bwe nguzi okwetoloola eggwanga lyonna akakulemberwa munnamaggye Lt.Col Edith Nakalema keewunyisizza bannaUganda olw’okuvaayo ne kategeeza nti kaakakola ku misango egiwerera ddala 58,415 mu myezi 11 gyokka okuva lwe kaatongozebwa.
Kino kibikkuddwa omwogezi wa Gavumenti Ofwono Opondo mu lukiiko lwa bannamawulire lwatuzizza ku Media Centre mu Kampala ku lw’okusatu.
Agambye nti emisango 8,022 gyonna gimaze okukomekkerezebwa, 4,017 gikyanonyerezebwako ate 35,280 gimaze okuwerezebwa mu bitongole gye gyazzibwa be kikwatako bagigonjoole.
Mu gino kuliko emisango egy’ekuusa ku nkayana ku mattaka ag’enjawulo nga abamu ku baawaba mu kakiiko bagamba nti tebasasulwa nsimbi, emilala gyekuusa ku kitongole ekilamuzi okulwawo okusala emisango gyabwe, nga gino bagisindise mu offiisi y’omuwaabi wa Gavumenti, ababanja ebisuubizo bya Pulezidenti bye baakumpanya saako n’obusonga songa obulala obwekuusa ku famire.
Opondo era agambye nti akakiiko kano era kasobodde okutaasa obukadde 700 obwali bwasasulwa mu bukyamu eri ebitongole ebisiba emipiira biyite (Betting) nga kwotadde n’obukadde obulala 87 ezaali zajjibwa ku bantu abaali baagala okugenda ebweru okukuba ekyeyo kyokka ne batatwalibwa.
Akakiiko kano era kayimirizza abakozi ba Gavumenti ku mirimu 82, nga kuno kwe kuli 3 aba banka enkulu, 9 okuva mu bbanka ya Posta, 11 okuva mu kitongole kye bya ttaka, 22 okuva mu Disitulikiti ya Alebtong, Amolatar, Dokolo, Lira ne Mbarara.
Akakiiko kano katekebwawo omukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni nga ennaku z’omwezi 10, December 2018.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com