Poliisi mu Gombolola ye Kazo, mu disitulikiti y’e Kiruhura eri ku muyiggo gw’omusajja Jonathan Magara agambibwa okutemako omutwe gw’omwana ow’emyaka 7 n’abulawo nagwo.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti obutemu buno bwakoledwa ku kyalo Kashongi mu district ye Kiruhura omugenzi Ephraim Muzafura bweyabadde kyaliddeko Magara okumusaba batambulemu mu budde obw’akawungeezi.
Ekiwunduwundu ky’omwana ono kyalabidwa abatuuze nga ne gyebuli kati tebanamanya kigendererwa kya musajja ono.
Mu kiseera kino Poliisi esabye abayinza okumanya Magara gye yekukumye bagyiyambeko okumukwata agulweko omusango gw’okutta omuntu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com