OMUSILIKALE wa makomera mu kkomera ekkulu e Mpigi gwe babbyeko emmundu olunaku lwe ggulo ebintu byongedde okumwononekera bakamaabe bwe basazewo agira aggalirwa nga bamulanga okulagajjalira omulimu gwe.
Hadijah Kantono yakwatiddwa ku bigambibwa nti yawereddwa omulimu gw’okukuuma Abasibe ku mande bwe baabadde bakamaabe bamugambye abalabirire nga baliko faamu y’omugagga gye baagenze okulimamu.
Kigambibwa Kantono olwalabye nga abasibe balima tewali mutawaana naye kwe kusalawo okudda ku ssimu ye natandika okukebera obubaka obwabadde bumusindikiddwa, nga kino kye kyawadde omwagaanya omuzigu eyafulumye mu nsiko namuvumbagira era namuyisaamu empi ez’okumukumu mu maaso era namujjako ne mmundu ye kika kya AK47 nakuuliita nayo.
Joab Wabwire nga ono ye mudduumizi wa makomera mu Disitulikiti ye Mpigi yagambye nti bagezezzaako okunoonya emmundu n’omuzigu naye bikyabuze, nagamba nti bakoze okunonyereza ekyavuddeko obubbi buno ne bakizuula nti omusilikale waabwe yabadde ali ku ssimu ye ey’omungalo nga akebera Facebook omuzigu we yamusangidde.
Ygambye nti omusikale wabwe ye bamuggalidde nga bwe banoonya emmundu eyabuze era nga bagenda kumuvunaana omusango gw’okubuza emmundu n’okulagajjalira omulimu gwe.
Abatuuze be Mpigi balaze okutya olwe mmundu eyabuze, ne bagamba nti eyinza okukozesebwa ababbi ne banyaga saako n’okubatemula.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com