KKOOTI Enkulu mu Kampala eyisizza ekiragiro eri amaggye okuleeta abakuumi ba Gen. Matayo Kyaligonza mu maaso g’omulamuzi beewozeeko ku misango gy’okukuba munnamawulire egibavunanibwa wamu ne mukama waabwe.
Bano okuli Lance Corporal Peter Bushindiki ne munne Peter Robert Okurut bonna nga ba mu kibinja kya maggye ekye 10, kigambibibwa nti mu mwezi gw’okubiri omwaka guno nga bali wamu ne mukama waabwe era nga ye mubaka wa Uganda mu Ggwanga lya Burundi bakkakana ku munnamawulire we kitongole kya UBC Peter Otai ne bamukuba bwe yali agezaako okukwata ebyali bigenda mu maaso mu kabuga ke Seeta Mukono, nga bakuba omusilikale wa Poliisi y’okunguudo Sgt, Esther Namaganda.
Mu mwezi gwe gumu bano baaletebwa mu kakiiko akwasisa empisa mu maggye akakulirwa Lt. Col. Richard Okumu ne bavunanibwa omusango gw’okukuba omuselikale w’okunguudo.
Ku mande omusango ogubavunanibwa munnamawulire Otai bwe gwatandise Puliida wa Kyaligonza amanyiddwanga Evans Ocheng yategezezza kkooti nti abaselikale 2 baabadde bakyali basibe mu kaduukulu ka maggye mu balakisi ye Makindye, nga nolwekyo tebasobola kubaawo kwewozaako.
Omulamuzi Andrew Bashaija olwawulidde bino nawa ekiragiro amaggye gabaleete mu kkooti beewozeeko nga ennaku z’omwezi 27 omusango bwe gugenda okuddamu okuwulirwa.
“Mpisizza ekiragiro baleetebwe mu kkooti bewozeeko kubanga nnyinza okugenda mu maaso okusalawo ate ne beemulugunya nti tebawebwa mukisa kwewozaako” Omulamuzi bwe yagambye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com