MINISITA omubeezi owa Tekinoologiya era nga ye mubaka omukya we Kayunda Aida Erios Nantaba avuddeyo neyegaana eky’okudduka mu Ggwanga ekibadde kimaze ebbanga ddene mu mawulire saako ne mu bantu, nagamba nti yali agenzeeko mu Ggwanga lya Canada ku mirimu emitongole, kyokka bwe yagimala naasaba Ssabaminisita amukkirize agira awummulamu era ekiseera olwaggwako naakomawo mu Ggwanga.
“Tewali nsonga yonna eyinza kunirusa kuva mu Ggwanga lyange kubanga sisobola kulekawo mirimu mukama wange Pulezidenti gye yampa nga kwotadde n’abantu be Kayunga abantekamu obwesige ne bannonda mbakiririe, yadde nga waliwo abantu abeeyita abanene abagezaako okumalawo obulamu bwange silina kye mbatyako kubanga ssi be ba Katonda” nantaba bwagambye.
Okwogera bino abadde ku pulogulaamu ey’okumakya ku ttivvi ya NBS, nga kino kiddiridde okuba nti abadde abuze okuva bwe waaliwo ebigambibwa nti omuvubuka kati omugenzi Ronald Sebulime yali amulondoola ne kigendererwa eky’okumutta, kyokka bwe yakwatibwa Poliisi ye Naggalama nattibwa mu bitundu bye Nagojje mu Disitulikiti ye Mukono nga teyewozezaako.
Kino kyaleetawo ebigambo bingi era akulira ekitongole kya bambega ba Poliisi Grace Akullo naayita Minisita Nantaba okukola sitatimenti, oluvanyuma Omukulembeze we Ggwanga yalagira Nantaba obutatambula oluvanyuma lwe by’okwerinda bye okuba nti byali tebiteredde bulungi.
Agamba nti waliwo abantu baayita ba Genero mu maggye ge Ggwanga Uganda baatayogedde mannaya era nga bali kulusegere lwa Pulezidenti, baagamba nti balina ekkobaane okumusanyawo nga kalunsambulira ava ku bbo kwagala kwekomya ttaka lya batuuze baakikirira e Kayunga.
“Ensonga ezaagala okunzisa ndabika mbalemesezza okutwala ettaka lya bantu bange, emirundi mingi baagadde okumpa ensimbi empitirivu, kyokka nze mbabuulira lunye nti sigulirirwa era nabagamba sijja kuva ku nsonga za ttaka wadde nga batera okumpayiriza ew’omukulembeze nga bwe nnemesa enkulakulana naye sijja kutiisibwa tiisibwa” Bwe yayongeddeko.
Ku nsonga ya Sebulime Nantaba agamba nti ekyalimu ebibuuzo bingi, nga buli lunaku alinda alipoota ekwata ku nfa ye naye tevaayo mu butongole, yeebuuza ani eyalagira Coporal Ssali okutta sebulime yadde nga mu kumunoonya waaliyo abaselikale bangi ate bamadaala amanene okusinga ku lya Ssali? Akyebuuza oba Sebulime ddali yali agenze kukyalira baana ku ssomero oba nedda kubanga bwe bamulagirira e Kabimbiri waagamba we yali abauliddwa ate yayitawo naddayo e mukono nga wano yatambula kilomita ezisukka mu 30 okuva awali aessomero lya baana be.
Era agamba nti okusinziira ku kunonyereza kwa Poliisi kulaga nti Sebulime yaliko banne 2 abadduka kyokka nga ye ne Ddereva we Tugume baalabako sebulime yekka ku Pikipiki eyaliko e nnamba ensibe ne miguwa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com