PULEZIDENTI Yoweri Kaguta Museveni awadde omumyuka w’omuduumizi wa Poliisi mu Ggwanga Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi ennaku 2 zokka nga maze okukwata saako n’okumalirawo ddala obubinja bwa batemu abakola obulumbaganyi ku bannaUganda naddala mu bitundu bya Kampala ne miriraano.
Bwabadde awa obubaka ku mbeera ye by’okwerinda nga bweyimiridde mu Ggwanga Museveni agambye nti afunye amawulire nga bwe waliwo obubinja bwa batemu n’ababbi era nga bakalakaala n’amajambiya saako nemitayimbwa mu budde bwe kiro olwo ne batanula okulumba obubuga obutonotono saako n’amaka g’abantu ne babanyaga, nagumya abantu nti kino tekibeeralikiriza kubanga ssawa yonna baakumalibwawo.
“Olwaleero ssijja kwogera bingi ku Mbizzi ezo, naye Sabiiti nkuwadde ennaku 2 zokka nga ovuddeyo ne nkola eyamangu okusobola okumalawo embeera eno, saagala kuddamu kugiwulira” Museveni bwe yagambye.
Yayongeddeko nti abatemu abali mu bubinja buno ssi bamutawana nga bwe balowooza kubanga basobola okubakwata saako n’okubasanyizaawo ddala mu bbanga ttono.
” Buno obubinja tugenda kubukola nga bwe twakola akabinja ka kiddawalime e Masaka, e Bukomero, Entebbe nawalala” Bwe yayongeddeko
Gye buvuddeko abantu mu kitundu kya Kampala ne miriraano babadde basula ku tebuukye olwa bazigu ababalumba nga babagalidde emigemera wala, amajambiya ne mitayimbwa ne babanyagako ensimbi saako n’okubatta.
Abasinze okukosebwa be ba bizinensi omuli Mobile Money, amadduuka saako n’amaka ag’enjawulo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com