ABATWALA ekitongole kye kirwadde kya kkaansa mu Ddwaliro e Mulago bavuddeyo ne bategeeza nti ebigambibwa nti ekyuma ekozesebwa mu kukalirira abalwadde kyafudde ssi bituufu.
Dr. Jackson Orem akulira ekitongole kino e Mulago agamba nti ekyamazima ekyuma bakiyimirizzaamu kko kubanga babadde bamaze ebbanga ddene nga bakikozesa kyokka nga tekilongosebwangako okumala omwaka mulamba.
Dr. Orem okwogera bino abadde addamu ebibuuzo ebibadde byebuuzibwa abalwadde ba kkansa saako n’abajjanjabi abagenda e Mulago ennaku zino ne basanga nga ekyuma kyayimirira, ekibadde kivuddeko okutya nti kiyinza obutaddamu kukola.
“Banange abantu bonna nabalwadde temwelarikirira ekyuma wekiri era kilamu ddala, lwakuba kibadde kimaze ebbanga ddene nga kikozesebwa nga tekilongoosebwa ate nga ebbanga lye baatuwa liweddeyo naffe kwe kusalawo okukiyimiriza nga bwe tulinda abakugu okuva mu Ggwanga lya Czech Repulic gye twakigula.
Agambye nti abakugu baabadde bakutuuka ku mande naye ne bafunamu obuzibu bwa Visa era nga olw’okubiri olweggulo bagenda kuba bataka mu Ggwanga lya Uganda era omulimu gutandikirewo.
Ayongeddeko nti ekyuma kino kikola ku bantu abasoba mu 120 buli lunaku, yensonga lwaki bwe bakiyimirizzaamu kko waliwo okukaaba kungi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com