OMUMYUKA w’omukulembeze we Ggwanga Edward Kiwanuka Sekandi asabye abantu okufaayo okukola ennyo nga tebebaliridde okusobola okulekawo omukululo nga bavudde mu bulamu bwe Nsi, kyagambye nti kikulu kubanga erinnya terisobola kuggwawo.
Sekandi agamba nti omuntu bwaba akola tasaana kutunuulira oba afunirawa, kubanga ekyo kiyinza okukulemesa okukola ebyandigasizza abantu mu kitundu kyobeeramu, saako ne Ggwanga okutwalira awamu.
Okwogera bino yabadde Mukono mu kifo ekimanyiddwanga Summer Gardens, bwe yabadde ayitiddwa nga omugenyi omukulu okujagulizaako Rev. Dr. Keefa Sempangi olw’okuweza emyaka 80 nga ono yoomu ku bantu abasooka okulabirira abaana ab’okunguudo, n’abasomesa bangi kubo ne bafuuka abantu ab’obuvunanyizibwa.
Omumyuka w’omukulembeze Sekandi yagambye nti Sempangi yeewayo nyo mu biseera ebyo omwali ne ntalo, kye yagambye nti tekyali kyangu, ate nga n’abaana bangi baali bafuuse mmomboze olw’abazadde baabwe okubafaako mu ntalo ezatagulataagula eGgwanga mu biseera ebyo.
Yamusiimye olw’omutima gwe yalaga abaana be Ggwanga nga ayita mu kitongole kya Africa Foundation ekisangibwa ku kyalo Ddandira mu munisipaari ye Mukono.
Yagambye nti engeri gye basazeewo okwongera amaanyi mu kitongole kino, Gavumenti egenda kuvaayo eyambeko okutwala mu maaso emirimu gya Africa Foundation, era namuwa ettu lya Bukadde 10 okuva ew’omukulembeze we Ggwanga atasobodde kwetaba ku mukolo guno.
Sempangi mu kwogerakwe yagambye nti wakati nga akola emirimu gy’okuyamba n’okusomesa abaana, yali tatunuulira Ggwanga oba nkula ya mwana yenna kubanga okukola omulimu guno kwali kuyitibwa eri Katonda, nga singa teyakikola ne Katonda teyandimusobozesezza kutuuka ku kyali kati.
Abantu bangi abasomesebwa Rev. Sempangi omuli Minisita wa mazzi Ronald Kibuule, Ssentebe wa Disitulikiti ye Mukono Andrew Ssenyonga, abasawo abakugu, abapoliisi nabalala bangi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com