POLIISI mu Gombolola ye Bamunanika e Luwero ekutte ne ggalira omuvubuka Solomon Ssemakula abangi gwe bamanyi nga Elosam Emmanuel Prince, nga ono amaze ekiseera nga yeyita Yesu omwana wa Katonda.
Ssemakula omutuuze ku kyalo Kikaabya kuluno ekimukwasizza ssi kweyita yesu, wabula Poliisi mu kitundu kino egamba nti batuuze banne bamwekengedde olw’ebintu bye yeekola bye bagamba nti ssi bya byabulijjo.
Bano bategezezza nti ekisooka yeeyita Yesu omwana wa Katonda omulamu, nti era agamba nti ye ssi mwana wa muntu era tazalibwangako muntu yenna, wabula ye mwoyo mutukuvu.
Nti era ono abadde ayambala ngoye za bbulu zokka okuva waggulu ku mutwe okutuuka ku kagere akasembayo, saako n’okuba nti ebintu ebili mu makaage byonna bya bbulu, ekitabudde abatuuze bawangaala nabo kwe kutegeeza ab’obuyinza.
Atwala Poliisi ye wobulenzi Gidion Byomuhangi oluvanyuma lwa batuuze okumutegezaako ku bikolwa bya Ssemakula agenze ku kyalo alabe ogubadde era olutuuseeyo asanze buli kimu ekiri ewuwe kya kkala ya bbulu nga kwotadde ennyumba ne kabuyonjo.
Agambye nti Bamubuuzizza lwaki yekola bino n’abategeeza mu bukambwe nti bbo nga ab’obuyinza tebamulinaako buyinza okujjako katonda we gwayita kitaawe yekka, bwe batyo ne bamukwata okutuuka ku poliisi, nagamba nti bagenda kunoonya omusango gwe bamuggulako okusinziira ku mateeka agafuga eggwanga lino.
Ssemakula agambye nti kuluno abantu bamuliddemu lukwe nga bwe baakola ku mwana wa Katonda yenyini kubanga talabyewo musango gumusibya.
Guno ssi gwe mulundi ogusoose Semakula eyeyita Yesu okukwatibwa, nga ogwasooka yakwatirwa ku kyalo Togo mu mwezi gw’omukaaga omwaka 2016 naggalirwa ku poliisi ye Kiwoko mu Luwero, nga yali agezaako okukunga abantu nga abayingiza mu diini eyali tetegerekeka nga yeyita Yesu eyazuukira, nti era yali awereza Kitaawe ali mu Ggulu.
Oluvanyuma yatwalibwa mu kkooti era eyo yali tayagala mulamuzi kumuyita Ssemakula, era buli lwe yamuyitanga nga agaana okuyitaba okutuusa bwe yamuyitanga Yesu olwo nalyoka addamu, Omulamuzi yamulagira okukomya eky’okweyita Yesu era namulagira okuggalawo mbagirawo ekidiinidiini kye yali agunjizaaawo mu kitundu, kye yakkiriza namuta ku kakalu ka kkooti.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com