BANNAKIBIINA kya NRM mu Disitulikiti ye Buvuma basisinkanye okusobola okwewunaganyamu kunnsonga ezikwata ku kibiina kyabwe ez’omunda balabe bwe bazimulungula nga okulonda tekunaba kutuuka omwaka gwa 2021.
Mu lukiiko olwayitiddwa omubaka wa Gavumenti e Buvuma Juma Kigongo, Omubaka wa Palimenti Robert Migadde n’omubaka omukyala Jenifer Nantume Egunyu ku lw’omukaaga, era nga lwetabyemu n’amyuka omwogezi wa Gavumenti Col. Shaban Bantariza saako n’omu ku bakulira okukunga bannakibiina mu Office ya Ssentebe wa NRM etuula e Kyambogo Haji Sulaiman Walusimbi, bannakibiina banyonyodde ebizibu eby’olekedde ekibiina singa abakulembeze abawaggulu tebavaayo mangu kubinogera ddagala.
Ssentebe wa NRM mu Disitulikiti eno James Wandera yekokkodde abaselikale abalwanyisa envuba embi olw’okutulugunya abatuuze saako n’abakulembeze ekisusse kye yagambye nti kino kye kimu ku bisinze okuvumaganya ekibiina kya NRM e Buvuma.
“Banange tetugaana kulwanyisa nvuba mbi kubanga naffe tetujagala, naye kyewunyisa abaselikale be Ggwanga nga bali mu ngoye ez’amadowadowa eze Ggwanga, nga bakutte emmundu ze Ggwanga ate ne badda ku bakulembeze ne bakuba awatali kuwuliriza, kino kikyamu era tetugenda kukikkiriza nga abakulembeze be Buvuma, ate ekisinga okutunyiiza kwe kuba nti bwe baba bakuba bategeeza abakulembeze nti Pulezidenti ye yabasindika n’olwekyo teri ayinza kubakwatako, kye tulowooza nti kikyamu era kisaana kiterezebwe kubanga kiyinza okwongera okussa obuwagizi bwe kibiina wansi” Wandera bwe yagambye.
Omubaka omukyala Nantume Egunyu mu kwogerakwe naye yalaze obwenyamivu olw’engeri enguzi gye yeyongedde okufuuka baana baliwo ku mazzi naddala mu baselikale abalwanyisa envuba embi, nagamba nti bano balabika balina ekkobaane n’olukwe olugenderere olw’okwavuwaza bannaBuvuma nga babajjako ensimbi empitirivu bwe baba babakutte ne byennyanja awatali kubatwala mu mbuga za mateeka.
“Njagala wabeewo ekikolebwa amangu ddala kubanga abantu baffe bakooye okukaaba, songa babadde bagezezaako okukendeeza okuvuba mu bukyamu nga kati beetaaga okwongera okwagazisa omulimu sso ssi kugubagobamu” Nantume bwe yagambye.
Ye Omubaka Robert Migadde Ndugwa mu kwogerakwe yasabye Pulezidenti alambulenga ku bantu be Buvuma nga bwakola mu bitundu ebilala, kye yagambye nti eno abantu abamuwagira gye bali naye tebamulabako eky’ongera okubamalamu amaanyi olumu ne bagenda n’omuyaga.
“Banange abantu bano ab’ogeddwako abatulugunya abantu bawulira eddoboozi limu lya Pulezidenti wa Ggwanga, kati mukama waffe Museveni tumusaba aveeko e Kampala ajjeko eno ewaffe abantu be bamutegeeze ebibaluma bikolebweko” Migadde bwe yagambye.
Amyuka omwogezi wa Gavumenti Col. Shaban Bantariza mu kwanukula yagambye nti bagenda kulaba nga babaako kye bakola okusobola okukomya abaselikale okutulugunya abatuuze n’abakulembeze, kye yagambye nti bagenda kukola okunoonyereza bwe banakizuula nti waliwo abakikola bagenda kukwatibwako kinoomu nga amateeka bwe galagira.
Yalabudde abakulembeze okwewala eby’obufuzi ebyenjawukana n’obukyayi, nagamba nti engeri gye bali nti ba mu nju emu balina okulaba nga bagonjoola mangu obutakkaanya bwe baba balina nga abantu okusobola okulaba nga ekibiina kitambula.
Bbo bannaNRM abakungaanye basabye Pulezidenti ayongere okubateera ensimbi mu bibiina byabwe naddala abakyala, ate abavubi ne basaba okutunulwamu mu ngeri eyenjawulo mu bonna bagagawale basobole okufuna obutimba obuvubisibwa mu mateeka beekulakulanye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com