BANNAUGANDA balaze essanyu ku kisaawe kye nnyonyi Entebbe nga enyonyi ze Ggwanga endala 2 zituuka.
Ennyonyi zino ekika kya Bombadier CRJ 900 zituusiddwa ku kisaawe Entebbe ku ssawa nga 09:30 ez’emisanaku mande.
Kati Uganda ewezezza Ennyonnyi 4 ezitonnye ku kisaawe Entebbe ku Mmande.
Minisita w’eggwanga ow’ebyentambula ye yayanirizza ennyonyi zino n’azirambula.Era Uganda esuubira okweyambisa ennyonnyi zino okwongera okutumbula ebyobulambuzi n’ebyensubulagana naddala mu by’amafuta aganatera okusimwa.
Kkampuni y’ennyonyi ya Uganda Airlines yatandikibwawo eyali Pulezidenti wa Uganda omugenzi Idi Amin Dada mu 1976 kyokka mu 2001 kkampuni eno n’egwa.
Mu August 2019 , Uganda Airlines yabuusa ennyonnyi yayo ku lugendo olusooka bwe yava e Ntebe n’egenda e Nairobi.
Era okuva olwo ennyonnyi zaatandise okusaabaza abantu okugenda mu bibuga ebyenjawulo mu Afrika.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com