ABAWAGIZI be kibiina kya Democratic Party DP mu Kibuga kye masaka baatabuse n’ebifuba ne bibabuguma ku lw’okusatu oluvanyuma lwa bawagizi b’omubaka wa Munisipaari ye Masaka Mathias Mpuuga Nsamba okugwangana mu malaka na b’omumyuaka wa Pulezidenti wa Dp Denis Mukasa Mbidde.
Bino byonna okubaawo kyaddiridde ab’ekiwayi kya DP Bloc okutegeka olukungaana mu Masaka ne kigendererwa eky’okwezza obuggya mu Kibiina nga kwotadde n’okutema empenda okusobola okuzaawo obukiiko bwa DP wansi ku byalo.
Olutalo okutandika kyadiridde mu biseera by’okumakya abavubuka abagambibwa okubeera mu nkambi ya Mbidde
Bwe baagezezzaako okutangira omubaka Mpuuga okuyingira mu lukiiko olw’abadde luyindira mu Masaka Social Centre
Mu kanyolagano kano abamu ku bakungu ba DP babuuseyo ne bisago ebitonp tono, oluvanyuma lwa bavubuka ababadde abakambwe okubayisaamu ensambaggere ne mpi bwe baabadde bagezaako okubakakkanya.
Oluvanyuma Poliisi ye Masaka yayitiddwa ne kkakkanya abaabadde batabuse, oluvanyuma olukiiko ne lugenda mu maaso okutuusa olw’eggulo.
Munna DP Bloc Dr Abed Bwanika omu ku baabadde abasaale mu kutegeka olukungaana luno yagambye nti ekyakoleddwa bannakibiina okulwanira mu lujjude tekyabadde kilungi, nabasaba okufuba okugonjoola ensonga zaabwe amangu ddala ku lw’obulungi bwe kibiina.
“Ekibiina kya Democrati Party kinene nnyo ffenna okutusinga, kale bwe munadda mu kulwana olw’obusonga obutono kiyinza okutuviirako obutafuna buwanguzi mu kulonda okujja” Bwanika bwe yagambye.
Baayogedde ku nsonga y’okulaba nga beegatta wamu saako n’okunoonya abagenda okwesimba ku buli kifo okuviira ddala ku kyalo okutuuka ku bwa Pulezidenti.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com