ABABNTU 60 ababadde batambulira mu Bus ya kkampuni ya LINK okuva e Bwera Kasese nga badda e Kampala mukama yatasizza bwe lemeredde omugoba waayo ne yefuula emirundi egiwezeeko.
Okusinziira ku batuuze Bus eno ebadde enetera okutuuka e Mityana nga edda e Kampala.
Abamu ku basabaze abawonye bategezezza nti, omugoba waayo yasoose kutegeeza nga bwawulira otulo, kyokka yakanze kulinda munne ajje amauyambeko nga takkiriza ekyazzeemu bagenze okulaba nga Bus eva ku luguudo bwetyo ne yesolossa ekikonko gye yefuulidde okukkakana nga esibidde mu nsiko.
Abasabaze abamu bafunye ebisago eby’amaanyi, kyokka nga teri afudde………
Obubenje bwa zi Bus ennaku zino bungi naddala ku nguudo empanvu, ekyawaliriza n’abakulu mu Poliisi ye Bidduka okusooka okuyimirizaamu kko ku kkampuni ezimu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com