ABATUUZE ku kyalo Timuna ekisangibwa mu Gombolola ye Kasangombe mu Disitulikiti ye Nakaseke baguddemu ensisi bwe basanze mutuuze munaabwe nga atiddwa amasanyalaze saako ne bisolo byabadde akedde okutwala ku ttale.
Afudde ategerekese nga Kiwanuka Moses nga kigambibwa nti yalinye ku waya za amasanyalaze ezabadde zigudde olw’enkuba eyafudembye mu kitundu kino ne zilaarira mu kidiba kya mazzi waabadde ayita okutwala ebisolo ku ttale.
Okusinziira ku batuuze bagambye nti enkuba eyatonye nga elimu omuyaga yeyasudde omuti gwa masanyalaze waya ne zigwa mu mazzi nga kibadde kizibu omuntu okuziraba amangu bwaba nga teyegenderezza.
Kitegerekese nti ono era badde atutte mbizzi ze ku ttale ate ne mbwa ye nga emuwerekeddeko kyokka bonna olulinnye mu mazzi omubadde amasanyalaze ne gamukuba ne bisolo byonna ne bifa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com