BANNAUGANDA bakeredde mu kiyongobero, oluvanyuma lw’okufuna mawulire g’okufa kwe yali omumyuka wa Ssenkaggale we kibiina kya UPC Joseph Bbosa.
Bbosa era nga ye mwami w’omulamuzi wa kkooti ye Nsi yonna etuula mu ggwanga lya Budaaki Salome Balungi Bbosa, yassizza ogwenkomerero mu ddwaliro elimu mu kibuga Hague ekya Budaaki gyabadde ajjanjabirwa.
Omwogezi we ssiga eddamuzi Solomon Muyita agambye nti bafunye amawulire g’okufa kwa Bbosa, era nga ab’essiga eddamuzi bakungubagira wamu ne mulamuzi munaabwe Salome olw’okuviibwako omwami we, era nagamba nti bajja kuvaayo ne ntekateeka ennungamu ekwata ku kungubagira omugenzi mu kitiibwa.
Bbosa yalondebwa okubeera omumyuka wa Pulezidenti wa UPC mu kiseera Olara Otunu we yaberera omukulembeze wa UPC, era bwe yavaako ne batandika okusika omuguwa ne James Akena aliko kati era nga ensonga zibadde mu kkooti.
Bibadde bikyali awo ate ekisaawe kya mawulire ne kigwamu ekyekango omu ku bannamawulire abagundiivu era aludde nga awereza abantu ku mukutu gwa Radio Sapienthia John Ssentongo okufa.
Ssentongo yoomu ku baatandika okuwereza ku mpewo ku Radio Sapientia, emyaka egiyise emabega era nga abadde awereza Pulogulaamu emanyiddwa nga MUKIKADDE buli lwa sande.
Ono bannamawulire abawerako bayise mu mikono gye era abasinga bamwogeddeko nga abadde alina omutima omulungi mu kutendeka bannamawulire abato.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com