OMULABIRIZI we Mukono Rt. Rev. James william Ssebaggala alabudde abasomesa mu massomero ge kkanisa abagaana abayizi abawala okukola ebibuuzo bya kamalirizo olw’okuba baba bafunye embuto kyagamba nti ssi kituufu kubanga baba betaaga okuwa omukisa okusobola okutwala ebirooto byabwe mu maaso.
Omulabirizi agamba nti omuyizi okufuna olubuto si ye nkomerero y’obulamu, yadde alufunye nga akyali mu ssomero okulufuna kiba kivve, naye oyo alufunye nga anatera okutuula ebigezo bye ebyakamalirizo aba yetaaga okuwebwa omukisa okutuuka ebigezo bye, oba oli awo bwe bikomawo nga amaze okuzaala asobola okweyongerayo natuukiriza ebirooto bye.
Okwogera bino yabadde akulembeddemu okusaba ku Ssomero lya Bishop’s SS e Mukono, nga ateeka emikono ku bayizi okuva mu massomero ge kkanisa agamanyiddwanga Bishp’s schools abaweredde ddala 76, saako n’okusabira abayizi ba massomero gano abagenda okutuula ebigezo byabwe ebya kamalirizo, Katonda asobole okubakwatirako bayite bulungi.
“Bulijjo tuwulira eyo mu massomero nti abasomesa bagaana abayizi okutuula ebigezo olw’okuba baba bafunye embuto, ekyo ffe mu massomero ge kkanisa tetugenda kukikkiriza, banange abaana abo bantu, era baba balina okuweebwa omukisa okutuula ebigezo kubanga okuzaala ssi musango, era nkubira omulanga abakulu ba massomero yadde agatali ga kkanisa okukkiriza abayizi bano basobole okutangaaza emikisa gyabwe okweyongerayo mu maaso” Omulabirizi Ssebaggala bwe yagambye.
Wabula yalabudde abayizi abakyali mu bibiina ebyawansi okwewala ebikolwa ebiyinza okubaviirako okufuna embuto ze batetegekedde, nagamba nti abanazuulibwa tewajja kuba kulonza lonza baakugobwa mu massomero ge kkanisa.
Abayizi abaamaze omusomo gw’okussibwako emikono beebazizza Katonda okubatuusa ku kkula lino, ate nabagenda okutuula ebigezo ne beegayirira omutonzi abasobozese okubiyita obulungi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com