MUNNAMAGGYE eyawummula Gen. Wasswa Kasirye Ggwanga ayongedde okutaama nagenda mu bibira e Mityana nagobayo bonna ababadde balimirayo wakati mu kawefube gwalimu nga atangira abasanyawo obutonde bwe Nsi.
Ggwanga kati amakanda agasimbye mu kibira kya Gavumenti ekimanyiddwanga Kabuukira ekisangibwa mu Disitulikiti ye Mityana, nga eno emiti gyonna gyasanyizibwawo abookya amanda, enku ne bilala.
“Ekibira kino kyali kukutte bulungi era abantu mu kitundu kino tebalina kye bajula naye kati kyonna kyaggwawo kyasigaza bupande bulaga nti kibira kya Gavumenti ekitakyaliwo, bino ssijja kubikkiriza okulaba nga mukitundu gye banzaala ate obutonde bwe nsi gye businze okulinnyirirwa.
Mmaze okugula amafuta ga Petulooli ebidomola ebiwerako ngenda kwookya buli kyokero kye nasanga mu kibira kino, era buli gwe ngenda okukwata yadde abalimiramu ngenda kubasiba kubanga mbalabudde ekimala” Ggwanga bwe yagambye.
Agamba tajja kutunula butunuzi nga abantu basanyawo obutonde bwe nsi kyokka nga abakulembeze tebafaayo balowooza ku bya bululu bwokka, nagamba nti ye muselikale omutendeke atatiisibwa tisibwa na kalulu, era nanenya abakulembeze be Mityana obutafaayo nga ebibira bisanyizibwawo.
Wabula abantu ababadde balimira mu kibira kye Kabuukira baalaze obutali bumativu eri munnamaggye Kasirye Ggwanga okubagoba mu kibira kino, ne bagamba nti gye babadde bajja eky’okulya saako ne nsimbi eziwerera abaana baabwe ne bamusaba abaleke basooke bajjeyo emmere yaabwe ebadde ekuze awo basegulire ekibira omulundi gumu.
Abamu ku bakulembeze e Mityana kino tekyabasanyudde nga bagamba nti Ggwanga asiga ensigo embi, bwagenda nga agobaganya abantu nga kwatadde n’okukuba amasasi, kye bagamba nti wayinza n’okuvaayo omuntu omulala omukyamu n’akola mu nkola yeemu nga yeerimbise mu linnya lye.
Kinajjukirwa nti Ggwanga yasookera mu disitulikiti empya eye Kasanda ne Mubende nga agobayo abaali basala emiti egyasimbibwa okuzzaawo ebibira, era nga eno yaggyayo n’omugemera wala naakuba emipiira gya zi Loole ezaali zitwala emiti mu kye yayita okuziyiza abasanyawo obutonde bwe nsi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com