AKAKIIKO ke by’okulonda kavuddeyo ne kakakasa e Ggwanga nga bwe bamaze okwetegeka okusobola okulaba nga batwala bulungi eby’okulonda ku ekifo ky’omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti ye Hoima olunaku lwe nkya.
Omwogezi wa kakiiko kano Jotham Taremwa agambye nti ebikozesebwa byonna bimaze okutuusibwa ku offiisi z’akakiiko ke byokulonda e Hoima, era nga kati bali mu ntekateeka yakubisindika mu bifo abatuuze gye bagenda okusuulira akalulu, ku ssaawa kkumi ez’okumakya.
Agambye nti bagenda kufuba okulaba nga okulonda kuno tekwetabikamu mivuyo, era nga bamaze okukwatagana n’abebyokwerinda mu kitundu kino ne Kampala okusobola okulaba nga buli kimu kitambula bulungi, era nga tebagenda kukkiriza ffujjo lyonna mu kalulu kano.
Okusinga embiranye eri wakati wa munnaNRM Harriet Businge ne munnaFDC era nga yawagirwa ekisinde kya People Power Asinansi Nyakato, era nga bano bonna bawera kuwangula.
Enkambi zaabano bombiriri ziri mu keterekerero saako n’okulondoba mu abo abagenda okukuuma bokisi ku buli kifo awalondebwa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com