ABATUUZE mu Town Council ye Sembabule saako ne Gombolola ye Mabindo mu Mwogola North bavuddeyo ne batabukira Omubaka waabwe era nga ye Minisita we nsonga z’ebweru Sam Kahamba Kuteesa, nga bamulanga okusalawo okuleeta omwana we amusikire ku kifo kyo bubaka mu Palimenti, kye bagambye nti alabika ayagala kuzimba bwa Kabaka bwe mu Mawogola nga takkiriza muntu mulala yenna kujja kukulemberako.
Bano nga abasinga ba kibiina kya NRM era nga baabade bambadde emijoozi egiriko ebigambo ebigamba nti “MAWOGOLA SSI YA NSIKIRANO” bagamba nti tebagenda kukkiriza Kuteesa kubatekako muwala we Shatsi Musherure Kuteesa, kubanga obukulembeze bwe Mawogola bumaze ebbanga lya myaka egisoba mu 30 nga buli mu nju ye, nga kati kyetaagisa bugendeko mu nnyumba endala sso ssi ye n’abantu be bokka.
Nga banziira mu lukiiko lwe baatuzizza mu Gombolola ye Mabindo baaweze obutakombya ku Musherure kalulu nti kubanga ebbanga Kitaawe lyamaze nga mubaka bagamba limala era nga abasinga tebafunyemu.
“Ffenga banna NRM tufunyemuki nga Kuteesa ye mubaka emyaka 30, era yegaggawazza nyo nga omuntu, buli mwana waffe gwe tuleeta gwagula namuwa ssente oyo ne tumufiirwa kuluno tetugenda kukkiriza ate ye kusalawo kugenda atulekere omwana we, nga alinga abufudde obwaKabaka e Mawogola tetugenda kubikkiriza, ne kilala tukooye ab’enju ya Kuteesa okutuduuliranga nga bwe tuli abaavu nga bbo kye baagala bakikozesa sente, kati twagala kuluno Ssemateeka we ggwanga lyaffe akole nga bwakilambika mu nyingo esooka nti obuyinza buli mu bantu, naffe atuleke twesalirewo” Bwe baa.gambye.
Banyonyodde nti abatuuze mu kitundu kino baavu nnyo kubanga buli kulonda Kuteesa abadde abawa bu ssabuuni na bu sukaali, kyokka nga tafaayo kukyusa mbeera zaabwe nabo beesimeko nga ab’ebitundu ebilala.
Bamuwadde amagezi akomye ejoogo gye bali, ne bagamba nti baakukola ekisoboka okulaba nga balemesa muwala we baleete ku muntu omulala kubanga bakooye abantu abava mu nju emu.
Gye buvuddeko Minisita Sama Kuteesa yategeeza bannaMawogola North ekitundu kyakikiirira nga bwagenda okunyuka eby’obufuzi mu kifo ky’obubaka mu Palimenti kyamazeemu emyaka egisukka mu 30 akirekere muwalawe Musherure, era naasaba abatuuze okumuwagira.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com