POLIISI ye Ggwanga yeesomye okuggala buli sauna eyazimbibwa nga abazimbi tebagoberedde bisanyizo, kye bagamba nti kino kivuddeko okwabika ne zikosa abazikozesa.
Kino kidiridde Sauna emanyiddwaga Marcos esangibwa e Kyaliwajjala mu Wakiso okwabika nga 16 omwezi guno n’ekosa abantu 5 abaali bagenze okweyokyamu nga enjogera ye nnaku zino.
Ekizibu kye kimu kyaliwo kko ne Ntinda mu Kampala mu mwaka gwa 2011 era nga wano abantu 8 baakosebwa byansusso.
Omwogezi wa Poliisi ye Ggwanga Fred Enanga yagambye nti bagenda kuvaayo ne nkola gye bagenda okuyitamu okulaba nga buli kifo ekilina Sauna kifuna ekiwandiiko okuva mu Minisitule ye kikula kya bantu, emirimu ne nkulakulana ekibakkiriza okukola omulimu guno, era nga abakugu bagenda kusooka kwekebejja bisanyizo byonna okulaba nga omutindo gweyongera okuterera.
“Aba ma wooteeri ne bizimbe abanasangibwa nga balina Sauna ezitazimbibwa ku mutindo zonna zijja kuggalwa, oba okulagirwa okuddamu okuzizimba buto” Enanga bwe yagambye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com