ABATUUZE abasoba mu 300 okuva mu byalo eby’enjawulo mu ggombolola y’e Buwooya mu disitulikiti y’e Buvuma batutte ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibira ekya National Forestry Authority mu kkooti nga bakivunaana okukozesa eggye lya UPDF okubatulugunya nga babagoba mu bibanja byabwe.
Bano nga bayita mu munnamateeka waabwe, Emmanuel Onyango beekubidde enduulu mu kkooti enkulu e Mukono .
Onyango yategeezezza kkooti nti aba NFA nga bali wamu n’aba UPDF baasooka kwokya mayumba g’abatuuze ne boonoona emmere yaabwe n’okubakuba emiggo.
Mu bakyasinze okutulunyizibwa kuliko; Gertrude Kasanga yagambye nti wiiki bbiri eziyise yakubibwa n’afuna ebisago.
Ibrahim Mugooda agamba nti akyalojja emiggo egyamukubwa ne gituuka n’okukyusa amagumba g’omugongo gwe.
Abatuuze bagamba nti bazzenga beekubira enduulu mu bakulembeze ku disitulikiti ne ku poliisi naye bonna tebasobodde kubayamba.
Bayongeddeko nti bwe bamala okubakuba, babaggalira mu kkomera era okubata basooka kubasasuza ssente ezitakka wansi wa mitwalo 150’000 buli muntu.
Abatuuze baasabye Pulezidenti Museveni abataase ku mbeera gye baayitamu. Wabula ye munnamateeeka wa NFA yagambye nti abatuuze baayogera nabo ne babategeeza ng’ekitundu kye balimu bwe kiri eky’ekibira era ne babalagira baveeyo kyokka ate yeewuunyizza okulaba nga baddukidde mu kkooti okubawawaabira.
Omubaka Omukyala owe Buvuma Jenifer Nantume nga naye yawerekedde ku bantu baakiikirira yagambye agenda kukola kyonna ekisoboka okulaba nga ataasa abantu b’omu kitundu ky’akiikirira.
Omulamuzi yayongezzaayo ensonga eno okutuusa nga October 17, 2019.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com