SSABALABIRIZI omuggya Rt. Rev. Stephen Kazimba Mugalu akyaddeko e Bulange Mengo nasisinkana Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, ne yeeyama okutambulira wamu ne Gavumenti ya Ssabasajja Kabaka.
Ssabalabirizi Kazimba agamba nti ekimu ku nsonga esinze okumuleeta kwe kulaga ensi nti buli muntu aba alina waasibuka nga omuntu saako ne Ggwanga lye, kale ye nga omuganda abadde alina okujja okweyanza ew’omutanda.
“Mbadde siyinza butajja wano kubanga bino byonna bye tulimu byaleetebwa Ssekabaka Muteesa II, nga ono yeyateeka omukono ku ndagaano okukkiriza abazungu baleete ediini mu Uganda, singa yagaaana mu biseera ebyo bino byonna tetwandibifunye, n’olwensonga eyo mbadde siyinza butajja wano kulaga nkolagana wakati we kkanisa ne Mengo” Kazimba bwagambye.
Anyonyodde nti mu bukulembeze bwe agenda kukolaganira wamu ne Gavumenti ya Ssabasajja okusobolaokulaba nga bakulakulanya abantu saako n’okussa ekkanisa mu bantu b’omutanda.
Ye katikkiro Charles Peter Mayiga asoose ne yebaza Ssabalabirizi Kazimba okuba omuntu omukozi era ayagala ennyo abantu, nagamba nti kino kyeyolekera ku mirimu egikoleddwa ate nga byankulakulana mu bulabirizi bwe Mityana, saaako ne Mukono gye yava.
Yeyamye obwakabaka okumukwasizaako mu mirimu gyagenda okukola mu bukulembeze bwe kkanisa obwamuweebwa gye buvuddeko, nagamba nti engeri omulembe Omutebi gye guli gwa nkulakulana ne Mengo tejja kumusuulirira mu kukulakulanya bantu ba Ggwanga.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com