Ab’oluganda ba bantu 3 abazeemu ne bakwatibwa abakuuma ddembe abaali mu ngoye ezabulijjo ku kkooti ewozesa abazizza egy’anaggomola nga baakama okuteebwa wiiki ewedde bawaze waze Ssabapoliisi we Ggwanga Martin Okoth Ochola ne bamukuba mu kkooti nga bamulanga okuyisa mu mbuga z’amateeka olugaayu n’alagira basajjabe baddemu okukwata abantu baabwe wewaawo nga kkooti yali abatadde ku kakalu kaayo.
Bano baagala Kkooti eyise ekiragiro bateebwe amangu ddala, kubanga kyamala okweraga olwatu nti baali bamaze okufuna ebisanyizo ebibakkiriza okuteebwa kyokka Poliisi negaana.
Nga bayita mu Puliida waabwe Anthony Wameli baategezezza nti bafubye ekyetagisa kyonna okulaba nga banoonya baagalwa baabwe naye tebanabafuna kubanga ne ku kitongole ekikola kukunonyereza ku misango e Kireka tebabakkirizza kutuukayo.
Ku lw’okusatu oluwedde , Yusuf Nyanzi, Jibril Kalyango ne Yusuf Mugerwa baadamu okukwatibwa ne batwalibwa mu kifo ekitanategerekeka.
Bano be bamu ku bantu 23 abakwatibwa ku bigambibwa nti beenyigira mu kutta omugenzi Andrew Felix Kaweesi , omukuumi we saako ne Ddereva we, era ne basindikibwa ku alimanda mu October w’omwaka gwa 2017.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com