Gavumenti ya America etaddewo ebiragiro ebikakali ku eyali Ssabaddumizi wa Poliisi ya Uganda Gen. Kale Kayihura, nga emulanga mu bikolwa eby’okutulugunya bannansi ba Uganda saako n’obulyake.
Ebragiro bino biyisiddwa mu kitongole kya America ekitwala eggwanika era nga kye kivunanyizibwa ne ku eby’obugagga bya bantu abatali bannansi ya America.
Bino byonna okujjawo kiddiridde abantu abenjawulo okutwala emisango egiwerako mu mbuga ezitali zimu nga beemulugunya ku Kayihura bwe yaberera Ssabaduumizi wa Poliisi nga bagamba nti baatulugunyizibwa, okutwalibwako ebyabwe, okuteekebwako emisango egitaliiyo, okuteekawo obuddukulu obutali mu mateeka nga Nalufeenya ne kigendererwa eky’okutulugunya abantu bannaUganda, Obulyi bwe nguzi ne milala.
America era eweze Kayihura obutaddamu kuweebwa kitambuliso kyonna ekiyinza okumukkiriza okuddamu okulinnaya ekigere kye mu Ggwanga lyabwe nga basinziira mu kawayiro 70319 (c) akali mu mateeka agafuga abayingira n’okufuluma America, nga kino bakikoze nga basinziira ku ngeri gye kyelaga olwatu nti Kayihura yenyigira buterevu mu bikolwa ebityoboola eddembe ly’obuntu.
“Kino tukikoze oluvanyuma lw’okukola okunonyereza ne tukizuula nga Kayihura we yabeerera akulira Poliisi mu ggwanga lya Uganda obulyi bwe nguzi bwali bungi nnyo, nga kino yakikolanga nga ayagala okuzimba omusingi omugumu mu by’obufuzi bye, era nga yali akozesa nnyo basajja be abamulinga kulesegere ne batulugunya abantu saako n’okubatwalako ebyabwe” Sigal Mandelker akulira okunonyereza ku byensimbi n’obutujju mu Gavumenti ya Amerivca bwe yagambye.
Ygambye nti tebagenda kutuula butuuzi nga abantu ab’olubatu bagenda mu maaso n’okutulugunya abalala, nagamba nti kibakakatako okubanoonya yonna okwetoloola ensi gye bali bavunanibwe.
Mu kiwandiiko kino era mulimu nti nabantu ba Kayihura omuli omukyalawe Angela Umurisa Gabuka, Muwalawe Tesi Uwibambe ne Mutabani waabwe Kale Rudahigwa, nabo tebajja kuddamu kukkirizibwa kulinnya mu Ggwanga lya America olwa mukadde waabwe okuba ne byamusobako bwe yali nga akyali mu mitambo gye kitongole kya Poliisi ye Ggwanga lya Uganda.
Eby’obugagga bwe mu Uganda ne bweru wa Uganda ekiwandiiko era kigamba nti bino bigenda kutunuulirwa eriiso ejjoogi okulaba nga byonna bikwatibwa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com